TOP

Omukyala mutandike ntya?

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

NNINA omwana gwe nnazaala nga nkyali muvubuka naye mukyala wange tamumanyi. Omwana ono atuuse okuleeta omusajja awaka kubanga yamala okusoma. Omwana wange ono mbadde mmulaba mu bubba era naye aηηamba nti ayagala kulaba ku banganda be. Kati nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

WALWAWO okubuulira omukyala nti olina omwana. Ate omwana ow’ekivubuka takuwa buzibu mwogerako kubanga mu buvubuka, bingi ebikolebwa.

N’ekirala ono omwana tomuzaalidde mu bufumbo ate era ne bw’omuzaalira mu bufumbo, tabeera na nsobi ng’omusajja olina okukuza abaana bo nga beemanyi n’okuuma omusaayi gwo nga guli wamu.

Kino tekitegeeza nti balina kubeera wamu oba okukulira awamu wabula balina okumanyagana.

Kino kiyamba amaka okubeera obumu okuggyako ng’omukyala gw’olina alina obuzibu naye kino tekisobola kuggya mukyala mu mbeera. Oba omukyala omutya, kozesa bannyoko oba bazadde bo ku nsonga eno.

Ne bw’ogenda mu bannaddiini, omwana ono talina musango alina okumanya baganda be ate tekigaana n’okukyalira mu maka gammwe. Kati oba amaze okusoma era alina kukolera mikolo wuwo kubanga mwana wo.

Ate ne mukyala wo oyinza omugamba ndowooza kati takutiisa ng’edda nga muli mumukwano.

Mwatulire nti akusonyiwe tewamugamba naaye olina omwana omukuulu. Beera muvumu kubanga bw’otokikola omwana oyo atandika n’okulowooza nti tomwagala. Siraba nsonga nkulu ekugaana okuzza omwana mu kika kye kuba talina musango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga