TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ejjakirizi ly’abawala lyandeetera okulokoka

Ejjakirizi ly’abawala lyandeetera okulokoka

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

BULI muntu ng’avubuka abaako ebimusoomooza naye nange mu myaka gyange egy’obuvubuka, ngirinako ebyafaayo.

More 703x422

Nze David Kakooza 37, mbeera Kawempe Lugoba. Ng’omuntu yenna bw’aba akula, abaako emitendera gy’ayitamu naye obuvubuka bwange nnayisa bubi kubanga okuva ku myaka 20 saafunako mirembe olw’ekizibu ky’okwegomba buli muwala eyansalanga mu maaso nga sifuddeewo na kunkula ye.

Buli muwala gwe nnalabanga nga mpulira njagala kubeera naye era nga mmwagala naye nga sirina busobozi bumutuukirira mu kiseera ekyo kye namwagaliranga.

Embeera eyo nagimalamu ekiseera kiwanvu ddala era nga ne bwe twabanga mu kibiina ng’abawala abantuula okumpi siweeza kubakwatirira anti nga buli kiseera ndowooza kyakubeera mu mukwano nabo.

Kino wabula kyanzaalira akabasa anti lumu nnakwatirira omuwala n’andoopa ew’omusomesa eyankuba emiggo katono anzite anti teyampa namukisa kumunnyonnyola kizibu kyange.

Nafubanga okutereka akasente akatono ke nafunanga nga kano ke nneyambisa okusikiriza abawala ab’enjawulo be nnegombanga.

Nga wayise emyaka nga mpagaalira mu mbeera eyo era ng’abawala bakola gumu gwa kundyako ssente zange, kwe kusalawo okulokoka era kye kyannyamba okuwadawadako.

Kati ebiseera byange ebisinga mbimala mbuulira kigambo kya Mukama era ndi kale ko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi