TOP

Ayagala tuddemu omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 19th March 2019

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mwagala okukamala. Simanyi kya kukola.

Ssengalogo1 703x422

ssenga

Waliwo omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mwagala okukamala. Simanyi kya kukola.

Olina okwebuuza ddala omusajja ono ali siriyaasi nti akwagala oba ayagala owulire bulungi. Oba alina ky’abaza ng’ayagala kukukozesa. Kubanga sooka weebuuze, yali akwagala n’akuleka ekitegeeza nti yasalawo nti omukyala oli y’asinga. Ate era amuzaddemu abaana babiri kyokka takugambye nti amulese wabula ogenda kufuuka nnamba bbiri.

Sigaanyi oyinza okuba nti eky’okubeera nnamba bbiri tokifaako olw’omukwano gw’alina naye oba ddala asazeewo ofuuke nnamba bbiri bw’akupangisiza ennyumba tekimala. Lwaki takyala ewammwe era n’akwanjula kubanga ekyo kiraga nti ddala ayagala ofuuke mukyala we.

Wadde omwagala weetegereze. Olina okumwagala kati kubanga ye yakuleka. Ate jjukira abasajja abamu bw’akwagalako ofuuka mukyala we. Era tayagala kuwulira nti wafuna omusajja omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sharifah1 220x290

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi...

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga...

Kasozi 220x290

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA...

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya...

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...