TOP

Ebbuba erikulemya emirimu oddeyo oliimise omukazi likuba obwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th March 2019

Abasajja abalowooza nti omukazi alundwa nga nte mwerimba. Omusajja n'alemwa okukola mbu kubanga bw’anaava awaka omukazi we bajja kumukwana. Emirimu ne bagimuyitira nga tagenda. Oba n'agenda okukola naye ku mulimu n’atatereerayo, ng’olwewungula luti ng'adda awaka, mbu alabe oba omukazi waali.

Mulimu1 703x422

Omusajja olina okukola

Ebbuba erikulemya emirimu oddeyo oliimise omukazi likuba obwavu

Ebyo by’oliimisa mukyala wo n'olemwa okukola nti  kubanga abasajja abalala bajja kumukutwalako munnange oyita bwavu. Ate nga bwe waba tewali nnusu, olwo omukyala gw’obubira onoomuwa otya ebyetaago?

Abasajja abalowooza nti omukazi alundwa nga nte mwerimba. Omusajja n'alemwa okukola mbu kubanga bw’anaava awaka omukazi we bajja kumukwana. Emirimu ne bagimuyitira nga tagenda. Oba n'agenda okukola naye ku mulimu n’atatereerayo, ng’olwewungula luti ng'adda awaka, mbu alabe oba omukazi waali.

Ate bw’adda atuukira ku ssimu ya mukyala alabe amasimu ge yakubye. N'olaba we yandibadde alowooza ku kugaziya emirimu, ali mu kwefulukuta olw'ebbuba! Ate nga lupiiya nga zigenze, ojja kuba nga tolina na bw’otangira mukazi butagenda mu balala. Kubanga ajja kuvanga awaka nga naawe w'oli agende ku dduuka okwewola ebizigo, eyo gye banaamukubira bbusu. Kubanga ggwe ojja kuba ng’otya okugenda ku maduuka; anti nga weewolaawolayo dda ebintu nga bakubanja. Kati olwo n'oleka ye agende y'aba yeewola. Awo kajjampuni w’abalagalira mu bbwa!

Naye abaffe, oyo omukazi gwe wali teweekakasa nti akwagala wawasa waaki? Ye abaffe lwaki wawasa oyo gw'olaba nti ye kigenzigenzi, buli amusekera gw’agenda naye. Mpozzi nga naawe bw’ofaanana.

Kubanga emirundi mingi ekigatta abafumbo kwe kuba nti bafaananya empisa. Kati ggwe bw’oba ng’okakasa nti mukyala wo mwenzi okutuuka ku ky'okuba nti buli amusekera gw’agenda naye, ekitegeeza nti naawe bw'oli.

Naye ate waliwo embeera ng’omukyala y’akutangira obutagendako mu banno. Nga naye atya nti bajja kukutwala. Kati oyo naye aba akufuula mbuzi ya zigeye. Lw’olifuna ekizibu ate y’alikugamba nti gendako mu banno batuyambe. Kyokka nga ye yabakugobako. Oba kale ne bwe kitaba kizibu nga ppate awaka. Ate y'alikugeya ng’alaba tewali bagenyi.

Oluusi omukazi y’ayagala okukusibira mu mwenge. Nga ye yakuyigiriza n'okunywa omwenge gwe wali tonywa. Bwe gulikunnyika ate kye kirimuddusa.  Ng’ensonga gy'awa nti omusajja yenna mwenge mwereere. Ate olwo ne banne bamuwagire.

 

Noolwekyo bw’ofuna omukyala ne mukkaanya n'omukuba awaka, ggwe omusajja nyiikira okukola kubanga era kye kijja n'okwongera essanyu mu maka. Naye leka kusuubira nti mukyalawo ajja kufa akawoowo k'ennyama akava mu muliraano nga ye alya ntula ezitatadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo