TOP

Olulimi lw’omuzadde lutonzi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2019

Omukyala ali mu maka, weegendereze ebivumo by’ovuma abaana bo. Kubanga olulimi lw'omuzadde lutonzi. Ebyo by’obavuma bajja kubifuuka obudde bukuddugaalirire. Omwana ayasa bwasa ekikopo n'omutegeeza bw’atalina magezi. Amagezi ago gajja kumubula olabe ate bw’aboonaabona mu nsi eno.

Cartoonembaata1 703x422

Olulimi lw’omuzadde lutonzi

Munnange ggwe omukyala ali mu maka, weegendereze ebivumo by’ovuma abaana bo. Kubanga olulimi lw'omuzadde lutonzi. Ebyo by’obavuma bajja kubifuuka obudde bukuddugaalirire. Omwana ayasa bwasa ekikopo n'omutegeeza bw’atalina magezi. Amagezi ago gajja kumubula olabe ate bw’aboonaabona mu nsi eno.

Era bwe kityo ne ku by’oyogera ku balo. Olwokuba agenze nga talese ssente za kameeza, n’oyomba n'okomayo nga bw’olaamiriza nti ye ssinga kifiiriddeyo gye kiraze. Nga n'omusajja gwe wafumbirwa otandise okumuyita ekisajja. oba akasajja. Munnage nno kajja kufuuka. Omusajja ayavuwale ssente zimubule nga ggwe oleese ekizibu.

Naawe omusajja bwotyo. Ebyo by’ojerega mukyala wo kubanga wakwanye, bijja kuloka abifuuke. Mukyalawo n'omuyita ekikazi. Ajja kufuuka olabe ensi bw’ekuddugalirira.

Kale obusungu bubaawo naye olulimi mulwegendereze. Omukyala obeera otya ne banno eyo mu bibiina gye mukungaanira, balo n'akuba essimu n'olaalika banno ng’oyogera nti,"kaakano kankubira...!" Wamufumbirwa tomulaba? Ate ku basajja mumanyi n'okutuuma bakyala bammwe amannya ge muwandiika mu ssimu. Mukyala wo n'omusevinga mu ssimu nga; Walaala, Muyombi, Ttabbu n’ebirala. Amannya gano ge mutuuma abaagalwa bammwe mubeera nga abalaamiriza beeyongerere ddala bafuuke ekyo.

So ng'ate bw’oba omwagalwawo mu ssimu omusevinze nga Swiiti, era ajja kweyongera okufuuka swiiti. Naawe taata w’abaana awaka bwe bakuyita Muzeeyi, kikwongera ku buwangaazi kubanga baba balaamiriza okaddiwe.

Waliwo amannya agayinza okuloongoosa laavu yammwe. Balo  n'omuyita amannya nga; Owekitalo, munnange era ajja kwongera okufuuka ow'ekitalo. Waliwo omukyala alina bba avuga Boda naye amuyita Musawo, kubanga  ye musawo we.

Abakyala abamu bakikola bulungi, abaana baabwe ne babapaatiikako amannya g’abasambi b'omupiira abamaanyi. Abalala abaana baabwe babapaatiikako amannya g'abantu abamaanyi mu nsi nga Obama. Munnange era omwana ajja kuyitimuka nga nannyini linnya eryo.

Naye bw’otandika okumuyita kabbira kubanga omukutte ng'abba sukaali olw'olumu, oba omusuula mu nvuba y'okubeerera ddala omubbii.

Kale abazadde mwegendereze ensonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo