TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muggya wange yanjokya amata n’adduka ku kyalo

Muggya wange yanjokya amata n’adduka ku kyalo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2019

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya Bisirikirwa, 20, mbeera Kawanda -Lwamata mu disitulikiti y’e Kiboga.

Laba 703x422

Bisirikirwa

Ennaku gye ndabidde mu bufumbo mu bbanga lye nnakabumalamu sigirojja. Muno mwe nasimattukira okuttibwa muggya wange bwe yanjiira akaseffuliya k’amata, katono nfe.

Nafumbirwa baze omwetissi wa kasooli mu bitundu by’e Lwamata mu September wa 2017.

Okumuganza, yali yayawukana ne mukyala we ono nga baalina omwana omu nga kati wa myaka esatu ate owange wa myezi munaana n’olubuto olukyali oluto.

Omukyala ono bwe yakimanya nti eyali bba awasizza omukazi omulala n’ava gye yali n’akomawo mu kitundu n’afuna ennyumba okuliraana ne we twali tubeera.

Yatandika okujjanga awaka ng’anvuma era bwe yalaba tekimumalidde n’akwata omwana waffe ffena kati ow’emyaka ena n’amutwala ng’alowooza nti omusajja ajja kugendayo amusisinkane boogere.

Bwe nagenda okuggyayo omwana wange n’amugaanira okukkakkana nga tulwanye olwo nga ne poliisi yakoowa dda ensonga zaffe anti nga tetuggwa ntalo. Yalaba omwana amulemeredde n’amunziriza.

Kino yalaba tekimukoledde n’atwala omwana we ewa nnyazaala kyokka baze n’agaana okumulabirira. Kati okutuuka ku kyendiko kati, omwana yagenda n’aggya obuugi ng’ali wa nnyazaala waffe azaala baze n’atafaayo kujjanjaba mwana. Bazadde be kyabayisa bubi era omwana ne bamuzza awaka.

Nafuba okujjanjaba omwana wa muggya wange ono era n’atereera. Muggya wange bwe yalaba ng’ateredde n’ajja awaka ng’agamba nti nayokezza omwana we naye nange nja kukisasulira era oluvannyuma n’akwata omwana we n’agenda.

Lumu mba ηηenda okukima amazzi ku luzzi kuba we mpitira nga nngenda okukima amazzi, namuyitako ne mukwano gwe nga bafumba mata mu ssefuliya wabula mba nkomawo nga neetisse ekiddomola, n’asitula akasefuliya k’amata ηηenda okwekanga ng’amaze okuganjiira nzenna feesi yonna n’eggya, amabeere n’ekifuba. Bwe yamala okunjokya n’adduka n’okutuusa kati ku kitundu yavaako.

Baasooka ne bantwala mu ddwaaliro e Kiboga ne nfuna obujjanjabi obusookerwako wabula enkeera ne batusindika e Kiruddu gye maze wiiki bbiri nga mpokya n’omuliro.

Muganda wange ne maama baagenda ku poliisi y’e Lwamata ne baggulawo omusango ku fayiro nnamba CRB/13/2019 okunoonyereza ne kutandika okukolebwa naye n’okutuusa kati omukazi talabikako.

Ekinnuma, ebbanga lye mmaze mu ddwaaliro, baze tanfuddeeko wadde okumpa ssente ezinzijanjaba ate ng’abasawo bwe bajja okukujjanjaba ku kitanda baagala basange nga waguze dda eddagala kubanga mu ddwaaliro teribaawo ate nga ne ssente sizirina.

Nsaba abasobola okunyamba kubanga siri mu mbeera nnungi ate omusajja alaga nti tandiko. Sirina ssimu wabula ayagala okunnyamba asobola okukuba ku ssimu ya muganda wange eri 0771809199.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...