TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muliraanwa waffe atufuukidde ekizibu

Muliraanwa waffe atufuukidde ekizibu

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2019

MULIRAANWA aleese empalana gye sitegeera. Omwana waffe omulenzi yafunyisa muwale we olubuto. Naye kati ayagala amuwase. Ate mutabani waffe agamba tamwagala eyo yali nsobi. Kati ayagala kututwala mu kkooti. Omuwala gwe bagamba alina emyaka, 21 muzzukulu waffe alina omwezi gumu. Ate obuyambi tubumuwa bulungi.

Ssenga1 703x422

Oyo muliraanwa ayagala kubatiisabutiisa. Omuwala ow’emyaka 21 abeera muntu mukulu mu mateeka g’eggwanga.

Oba yamukwata bukwasi nga waliwo n’obujulizi obukakasa nti ddala yamukwata olwo gubeera musango. Naye oba waaliwo okukkiriziganya olwo tewali musango.

Ennaku zino abazadde baagala okuggya mu bantu abalala ssente mu ngeri ng’eno. Olina okwetegereza byonna.

Naye ng’okuzaala mu muntu yenna omwana tekitegeeza nti alina kufuuka mukyala wo. Wabula gwe omusajja olina okubeera n’obuvunaanyizibwa ku mwana wo.

Kubanga buli mwana asigala mwana era mwe abazadde abaamuteeka mu nsi mulina okumulabirira.

Kati totya bino bigenda kuggwa tewali musango era talina bw’asiba mutabani wammwe ku nsonga eno. Era tasobola kumukaka kuwasa muwala ono ate nga tamwagala.

Omuwala ky’alina okukola kukuza mwana atandike obulamu obulala. Ate abavubuka balina okwetegereza, ennaku zino waliyo abawala nga baagala kuzaala mu famire ze balaba nti zisobola okulabirira baana ate abalala banoonya bufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa