TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Maama w’abaana bw’anyiiga sikomba ku kamuntamu!’

‘Maama w’abaana bw’anyiiga sikomba ku kamuntamu!’

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2019

ENGERI abakazi gye beeyongedde okutulugunyaamu babbaabwe oba baganzi baabwe ensangi zino eyinza okukukwasa ku mumwa nga weewuunya. Abakazi batulugunya abasajja mu ngeri nnyingi naye ekimu ku bisinga okulumya omutwe ye mukazi okumumma akaboozi.

Kazi 703x422

Abazannyi ba ffrimu okuva mu Holly Angels Dramactors e Lukaya nga bazannya ekitundu ekiraga omusajja nga yeegayirira mukazi we.

Oyinza okukkiriza nti waliyo abasajja nga basooka kufukamira ne beegayirira omukazi okumukkiriza okusinda naye omukwano! Kino kitera kuva ku nsobi omusajja gy’ayinza okuba nga yakola okugeza okumukwatira mu bwenzi.

Abalala kiva ku kulemererwa kutuukiriza buvunaanyizibwa ng’obutaleka ssente z’akameeza.

Mulimu abanyiiga olw’obutasasula fi izi za baana, obutamugulira lugoye lwa lunaku lukulu, ez’ennyumba bwe baba bapangisa oba essimu ya ‘smart’ atuukane ne bakyala banne ababeera ku WhatsApp ne facebook.

Ab’engeri eno basiba obusungu ne babutwala mu kisenge era buli lw’omukwatako nga yeesammula olwo eyakuwanga ‘haaga’ kitawe lw’agezaako okuleeta ekifuba amugwemu ng’amugamba nti ‘haaga zo twala eri mu bamalaaya bo bazikuwe.’’

Abasajja batulugunyizibwa nnyo nga bayingidde mu buliri n’alaba munne nga mu nayiti gy’asulamu asoosezzaamu ekiwale ng’akisibye n’oluwuzi kuba ekya laasitiika omusajja ayinza okusolossa omukono! Abamu bagattako okusala poloti mu buliri, naddala abasula ku zi mazongoto. Wakati ateekawo ogubulangiti ogunene si kulwa ng’amukoonako.

Abalala obuliri babwawuzaamu mwana omuto ng’omukyala alemeddeko nti ayagala basule bonsatule. Bannange bamaama ennaku zino mwetanidde nnyo okwambala ‘bayika’ nga muzisiibamu kumpi olunaku lulamba bwe mwadibya ppeti kyokka n’ekiro bwe weesala ekipale ekikukwata mu bisambi ne waggulu n’osibako oluwuzi olwo onoowona otya okusiiyibwa mu Nagundi kuba embeera ey’obuteetaaya y’etera okuvaamu ebirwadde nga kandida.

Abafumbo abalala babeera baayawula bitanda ng’omusajja buli lw’agezaako okusala agende ewa munne, ebigambo ebimwaniriza bibeera: “ate ggwe ajja agabattukana.... nze tonzungirako... Abakazi abamu babeera beewera nti k’ageza okunkwatako nga wano taleka ssente za kameeza oba ez’ennyumba nja kumubikkulira ‘ebbwa’ ly’akamwa ampuliremu. Era musajja wattu lwe yeetantadde bamuvuma okutuusa otulo lwe tumutwala.

Embeera eno etabula omusajja n’atandika kwebuuza oba munne alina gy’ayitira n’agaba ku bisoobooza bye.

Dan Ddamulira owa NANA Counselling Services agamba nti okutulugunya omusajja okw’engeri eno kuvuddeko nnyo obutabanguko mu maka.

Agamba nti waliwo abasse baganzi baabwe abalala ne babakuba ne babatuusaako ebisago oba okugulirira ne babayiira asidi. Ddamulira agamba nti omukazi buli lw’alumya omusajja mu ngeri eno abeera ng’amusindika anoonye omukazi omulala, ekitali kituufu.

Omusajja okumukozesa emirimu gy’awaka! Oyinza okukkiriza nti abasajja abamu bawalirizibwa okufumba n’okwoza engoye awaka nga tebeeyagalidde. Oluusi bwe wataba mukozi omukazi n’amulaga nga bw’akooye ennyo oba engalo okunuubuka ng’ayozezza engoye ennyingi. Abakazi ab’engeri eno be bakwesooka n’alaga nga mukwano gwe bwe bagabana emirimu ne bba oba bannyina nga bwe baakolanga emirimu awaka wadde nabo abawala baabeerangawo.

Waliwo omukazi gwe bannyumiza nga ye obuwale bw’omunda bw’abuggyamu ng’abukuηηaanya mu bbaketi, oluusi ng’abuterekera nga wiiki bbiri nga tebulabye ku mazzi. Bba yagezangako okubumujjukiza nga tamufaako era musajja wattu yatuuka ekiseera n’atandika okwevaamu n’abwoza anti ng’ekinaabiro kitandise okuwunya, ate nga munne tafaayo.

Omukazi bw’afuna ku ssente ne zituuka n’okusinga eza bba oluusi omusajja atulugunyizibwa ekisusse. Bwe batamutuma mirimu ng’okugenda mu katale okugula eby’awaka, buli omukyala lw’akomawo awaka ng’obudde buyise, takkirizibwa kubuuza gy’ava.

Ke kamutanda n’abuuza gy’aludde bw’atamuvuma nga bwe yeetwama obusajja obwavu, amujerega nga bwe yalemwa emirimu ng’alina kulindirira bamuwe ng’omukazi. Kale mbuulira lw’aliddayo okumunyega, naye nga wano wonna kubeera kutulugunya musajja.

Obadde okimanyi nti abasajja abamu bwe baba balina gye banaalaga nga bajja kulwayo balina kusooka kusaba mukyala w’awaka so ssi kumutegeezaako kuba alina ebbeetu okumugaana.

Bw’oba okyali ku abo ate n’owulirayo abapacca babbaabwe empi ng’akoze ebimunyiiza. Ddamulira agamba nti kuno kubeera kutulugunya musajja. Agamba nti ensonga ezimu tezeetaaga kutulugunya munno wabula okuteesa n’okusonyiwagana.

Embeera endala abakazi mwe batulugunyiza abasajja kwe kusomba abooluganda n’abateeka awaka olwo n’ayombanga okukunkumula ennyenje buli omusajja lw’aboogeddeko oba okubeemulugunyaako.

Okutulugunya omusajja kubeera mu nsawo olw’engeri gy’ayongera okusaasaanya okubayimirizaawo. Oluusi bayisibwa nga Bambejja oba Abalangira anti tebakwata ku mirimu gy’awaka ate omusajja n’asigala ng’asasula ez’omukozi w’awaka.

Omukazi bwe yeetamwa omusajja oluusi atandika okumugeraageranya ku basajja abalala nga bwe bamusinga. ‘Oba ggwe lwaki tokolanga bba wa Claire amuwa ssente n’agula eby’omu katale ku wiikendi.

Omusajja okumulaga nga gundi bw’amusinga nakwo kubeera kumutulugunya ng’ogezaako okumulaga bw’ali omunafu. Maureen Atuhaire akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi ya CPS agamba nti bafuna emisango mingi egy’abasajja abatulugunyizibwa abakazi.

Egikwata ekisooka agamba nti gya bakazi okumma babbaabwe akaboozi ekitera okuvaako obutabanguko mu maka. Emirala gibeera gya kukuba basajja omuli okubazinga emiggo n’okubapacca empi.

“‘Oluusi abakazi bano obalabira ddala nga bannakapanka. Bajja wano nga twagala okubatabaganya kyokka omusajja abeera akyannyonnyola ensonga ebaleese omukazi n’amulumba n’amukwata amataayi oluusi n’okumuyisaamu empi. Weebuuza nti w’atatiiridde kukuba bba ng’ali mu maaso ga poliisi olwo bwe babeera bokka awaka tekiyitirira?’’ Atuhaire bwe yategeezezza.

Emisango emirala gibeera gya kusibira musajja wabweru, omukazi n’amugaana okuyingira mu nnyumba bwe wabaawo okumuteebereza obwenzi, okunywa omwenge n’atamiira n’ebirala.

Atuhaire agamba nti abakyala abalala okutulugunya abasajja bakukolera mu kubagoba mu by’obugagga by’awaka okugeza okumufuumuula mu nnyumba oba mu bizinensi.

Agamba nti babeefuulira naddala nga bafunye obutakkaanya mu nsonga omuli obwenzi, obutawa baana ffi izi, okubaako ebintu bye batunze n’ebirala.

Yategeezezza nti bagezaako okutabaganya abafumbo ababaleetera ensonga nga zino okwewala obutabanguko obubeera mu maka. Jane Nampijja ow’ekitongole kya Men’s Forum Against Domestic Violence Uganda nga kino kitangira obutabanguko mu maka, agamba nti nabo bafuna abasajja abawerako ababaloopera nga bwe batulugunyizibwa.

Waliwo omusajja eyafuna obutakkaanya ne mukazi we ng’obuzibu bwava ku mukazi okumuzira mu kisenge kyokka ng’amukanda okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’awaka.

“Omukyala amaze omwaka nga tetwegatta. Yatandikira ku kuη− ηaana kumukwatako ekyaddirira kwawula buliri bwe yanteebereza okubeera n’omukazi omulala ekitali kituufu. Buli lwe nagezaangako okumwegayirira ng’annangira ne bye nnakola emyaka etaano egiyise. Kati ansuubira atya okugula eby’awaka nga sifunirawo ssanyu lyonna,’’ omu ku be baakolako bwe yategeeza.

Nampijja agamba nti bafuba okutabaganya abafumbo bano nga bababuulirira okubeera abakkakkamu, obuteekuba migongo mu kisenge n’okuteesa nga balina kye bakola okwewala okufuna obutakkaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...