TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abasajja gye banafuye ne badda mu kufuluuta mu buliri

Engeri abasajja gye banafuye ne badda mu kufuluuta mu buliri

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

OKOOYE okukongojja, oli ssekibotte, oyagala okusamba kyenda, oli kajiiko mu kikopo, yingini eragaya, oli nsindikanjake, bbaatule yo evumbeera? Bino bye bimu ku bigambo abatunda eddagala ly’amaanyi g’ekisajja bye bakozesa okukulowoozesa nti weetaaga kwetereeza.

Twala 703x422

Abaagalana mu kisenge nga basobeddwa. Omusajja bw’abulwa amaanyi amaka kizibu okutambula obulungi.

Bakozesa ebigambo ebitiisa, n’ebikuzzaamu essuubi nti; Jjangu tukuwe ttabbo, genereeta eri otomatiki osobole okwetooloola ekisaawe emirundi ena ne munno asiime, ng’osaza kimu.

Omuwendo gw’abantu abakozesa eddagala ly’amaanyi g’ekisajja gweyongera buli olukya.

Bangi balikozesa ne beetenda emisinde olwokufubutuka laawundi nnya oba ttaano. Kino oluusi kyonoona omulamwa gw’akaboozi kuba kireetera omukazi okwetamwa.

Omukyala si ye yekka akosebwa embeera eno, wabula naawe omusajja kikukosa kuba eddagala lino ebiseera ebisinga liba terigezeseddwa okukakasa oba nga liri ku mutindo omutuufu.

Kino kyongera emikisa gy’okukosa n’okwonoona amaka go nga lw’otolisanze ku dduuka weekweka mu bulangiti.

Oyinza okwesanga ng’obadde tolina kizibu, kale ne bw’oba ng’obadde nakyo ng’osobola okwerwanako n’osotya mpolampola okutuusa lw’osanyusa munno ne mufuluma ekisaawe mu ddakiika ttaano nga muli basanyufu.

EMIKWANO GYANZIGIRA KA KIKUMI

Paul Ssemanda 39 atottola engeri eddagala ly’amaanyi g’ekisajja gye lyali lyonoonye amaka ge.

Nalina mukyala wange era twalina essanyu ly’omu maka kyokka oluvannyuma natandika okubaliga. Kino saakikola nti nali mmukyaye wabula gwali muze gwe nali njigidde ku mikwano gyange be nacakalanga nabo. Lumu nakwana omuwala Omunyarwanda.

Ono yayoyanga nnyo akaboozi ng’ebiseera ebisinga takakkuta. Lwe twasisinkananga yandaalikanga nti, “ddadi.. bambi njagala leero ojje ng’onywedde si bya kundeka mu kkubo, bwe kiba kisoboka maama w’abaana tomukombya..” Embeera eno bwe nagiyitiramu mikwano gyange bampa amagezi neekwate akakerenda ke bayita 100.

Kano mu kusooka kankolera wabula nga nkafunamu obuzibu bw’okusigala nga mutaka akangabadde oluvannyuma lw’okwegatta, naye kino saakifaako.

Wabula lumu lwe nali ow’okusisinkana omuwala ono, nagenda okutuuka ku dduuka we ngula akakerenda kange nga liggale, kyokka nga mwana muwala yali anneesunze ng’ankubira amasimu agokumukumu.

Kyambuukako bwe natuukayo nga ndi waakuyimbira ttengerere era siikulimbe nti nina kye nakolayo.

Ensonyi kata zinzite era ono saamuddira ne nsigala ne maama w’abaana eyanteerangako enva endiirwa n’ebirala ebyannyamba okutereera n’okutuusa kati nga ndi kawerette.

ABASAJJA TEBALINA MAANYI OBA TEBAGAMANYI?

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu akusaasidde ggwe eyeetenda okwefunuggula laawundi ttaano ng’olowooza nti amaanyi g’ekisajja ogaweza nga munno omuleka mu kkubo.

“Okubeera n’amaanyi g’ekisajja tekitegeeza kubeera na busajja bunene oba okugenda laawundi ennyingi, wabula kufuna essanyu n’okunyumirwa,” Mukisa bw’annyonnyola.

Ate Dr. Mark Muyingo omukugu mu nsonga z’ekikyala akolera ku Neo Genesis Fertility Center ku Bukoto Street e Kamwokya ne mu ddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti; Amaanyi g’ekisajja tezibera laawundi, okuwangaala n’amaanyi g’okozesa wabula kussanyusa n’okumatiza munno.

Mukisa awa ekyokulabirako eky’oluggi oluggulwa n’akasumuluzo akatono so si kulusamba.

“Obukyala okufaananako n’ennyumba, bubeeramu ebisenge. Omusajja olina obuvunaanyizibwa bw’okuggulawo ebisenge bino mpolampola so si kukozesa maanyi ng’agakozesebwa mu jjiimu. Kino kye kisumuluzo ekiyinza okukuyingiza mu bisenge by’omu nnabaana omusibuka essanyu ly’omukyala ekimuyamba okutuuka amangu ku ntikko.”

Agattako nti buli lw’okozesa amaanyi amangi mu kwegatta, okendeeza emikisa gy’okuyingira ebisenge.

Eno y’ensonga lwaki buli lwe mwegatta kirungi okwogeraganya ne munno, n’olaba era n’okakasa oba ky’okola akyagala.

Mukisa agamba nti abasajja abasinga balina amaanyi, wabula waliwo okucamuukirira nga bwe batera okutinkiza n’ebintu ebipya ku katale. Kati buli omu anoonnya ddagala lya maanyi g’ekisajja kugezesa.

Wabula alabula nti bangi balozezza ku ddagala lino naye bwe bamala okulifunamu obuzibu nga balivaako.

Eddagala lino oluusi lireeta okulumizibwa mu mugongo, okuwuuma mu matu, kammunguluze n’okwereega ekisukkiridde Dr. Muyingo agamba nti weewawo abantu tebakyalina maanyi ga kisajja ng’edda, nga kino kivudde ku bizibu mwe batambulira, wabula abatunda eddagala lino bazannyidde nnyo ku bwongo bwabwe olw’obubaka obubalowoozesa nti tebalina ssanyu lya mu maka.

Dr. Muyingo agamba nti omuntu gy’akoma okuwulira abatunda eddagala lino nga beeranga, akiteeka mu bwongo nti osanga naye tamalaako bulungi.

Olw’okuba abeeramu ebirowoozo bino, kyangu okutuuka mu kitanda n’atandika kuvuya.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera