TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obubonero kw'olabira omusajja atakyalina mbavu mu by'omu kisenge

Obubonero kw'olabira omusajja atakyalina mbavu mu by'omu kisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

Edith Mukisa agamba nti okuva lwe kiri nti akaboozi bakazannya kunyumirwa gwe eyateranga okutuusa munno ku ntikko, bw’olaba nga kati kikuzibuwalira, ng’omanya nti olina okwekeberamu.

Koonako 703x422

Omusajja nga yeekebera okulaba oba amalako.

OMANYA OTYA AGAKENDEDDE
 
 
Ekirala, bw’olaba nga munno eyayimbiranga waggulu ng’omukoonye ku sswiiki, eyaleetanga ag’emugga, eyanyeenyanga ekiwato ne kalonda omulala, bw’aba takyabikola kandiba akabonero akalaga nti tokyatuuka bulungi we watuukanga.
 
Dr. Muyingo agamba nti ng’oggyeeko obwenzi, singa weesanga nga tokyayagala kwegatta na munno kimanye nti amaanyi go gandiba nga gakendedde.
 
Kino kitera okuleetebwa embeera ez’enjawulo omwami mw’asiiba omuli situleesi n’ebirala ebimuviiraako obutayagala kwegatta.
 
Dr. Muyingo agamba nti batono abazaalibwa nga tebalina maanyi ga kisajja, era mu kiseera we bavubukira we babalabira. Oluusi babafunira eddagala ne bategeera.
 
Agamba nti atalina maanyi ga kisajja y’oyo atasobola kuyimirira.
 
Wabula Dr. Muyingo agamba nti waliwo n’abasajja abafulumya enkwaso ezitannatuusa (premature ejaculation) ng’era ne bano batwalibwa ng’abatalina maanyi gamala.
Olw’okuba abeeramu ebirowoozo bino, kyangu okutuuka mu kitanda n’atandika kuvuya.
 
 
BIKI EBIBUZA AMAANYI?
 
Mukisa akubuulira gwe maama w’abaana okukwata obulungi balo kuba yandiba emu ku nsonga emufuula ssekibotte.
 
Okuyomba, okumupeeka ssente, obwenzi mu n’ebirala bye bimu ku bintu abakyala bye babuusa amaaso kyokka nga bye bikyasinze okubuza essanyu ly’omu kisenge.
 
Buli musajja lwe yeegatta n’omukyala ng’ali mu birowoozo bingi n’atateekayo mwoyo olw’ennyiike, obwongo bwerabira kyokka nga bwe bulina okutegeeza omutima gukube omusaayi oguwera okukkirira mu busajja ekiyamba emisuwa okulwawo nga gyereeze, okusobozesa olubimbi okukwajja.
 
Abantu ennaku zino bakola emirimu gy’okutuula obutakakaalukana ekibaleetera okuzibikira emisuwa n’ebicaafu.
 
Kino kivaako omusaayi obutatambula bulungi mu mubiri ekitegeeza nti obusajja tebujja kufuna musaayi gumala.
 
Okutuula ennyo n’obutakola dduyiro kivaako obusimu bwa ‘testosterone’ okubeera wansi ennyo so nga guno gwe mubisi gw’ekisajja oguyamba okukuza, okukola n’okutereza ebitundu eby’enjawulo.
 
Endya embi naddala ebintu ng’amasavu, n’okulya emmere ennyingi bivaako emisuwa okuzibikira n’alemwa okukiika obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...