TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebiyamba okugogola emisuwa olubimbi ne lugenda bukwakku

Ebiyamba okugogola emisuwa olubimbi ne lugenda bukwakku

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

BW’OBA oli omu ku be bayimbira ttengerere, ateesobola bulungi, naawe gwe gakendeddeko, Mukisa akuwa amagezi okufangayo ennyo ng’onoonya munno nga bw’omunyonyoogera sswiiki eziyamba okusumulula ppata.

Day 703x422

Omubisi ogukamuddwa mu bibala n’ebivaavava bizzaamu amaanyi n’omusaayi.

Ppata buli lwe zisumulukuka n’olaba nga munno anyumiddwa nnyo naawe kikuyamba okusituka, era bwe weesogga ekisaawe mwongeza emikisa gy’okumalira kumu. Kola dduyiro, wettanire emmere eyamba okuzimba omubiri, ezzaamu omusaayi n’eyo erimu ekiriisa kya ‘testosterone’ nga bogoya, enjuba y’eggi, obutungulu n’endala.

Dr Charan Das ku mukutu gwa www.lybrate.com/topic/benefi tsof- ginger-for-sexual-health, agamba nti abasajja be bayimbira ttengerere, abalwa mu kisaawe, nabo abaafa enkwaso basinga kubeera ba myaka 40 n’okudda waggulu.

Agamba nti bano kirungi bettanire entangawuzi, kuba obusajja bwabwe tebutera kufuna musaayi gumala.

Entangawuuzi eyongera obusimu bwa ‘testosterone’ ebitundu 17.7 ku 100.

Kino kitegeeza nti emikisa gy’obusajja n’okweyogera obunene buli waggulu kuba obusimu buno buvunaanyizibwa ku bikufuula omusajja.

Entangawuzi gikoone ng’ekyali mbisi oginywere mu caayi oba gigaaye nga mbisi. Ejja kukutangira n’okukuwonya endwadde z’omutima, obutacamuka era erongoosa n’enkwaso ennafu.

Agattako nti ggwe awezezza emyaka 40, n’amaanyi gwe gakendeddeko weekwate kantunguluccumu kuba ayamba okugogola emisuwa n’okusaabulula omusaayi ebiseera ebisinga ogubeera omukwafu.

Kino kiyamba omusaayi okutambula obulungi ate amangu okutuuka mu bifo eby’enjawulo nga mu busajja n’ebirala nga mwegatta.

Katunguluccumu omukozese nga mubisi asinga omufumbe ebiriisa n’omugaso.

Musaleesale omumire oluvannyuma olyoke olye emmere. Bw’omala okulya, nywa amata oba okun uuna ku nniimu okwewala katunguluccumu okukuwunyako.

OMUSAJJA NAYE ALINA ENNAKU Z’ABEERERAMU N’AMAANYI AMANGI OBA AMATONO?

Dr. Muyingo agamba nti omusajja omulamu nga talina kizibu abeera asobolera ddala okubera n’amaanyi ge kuba obwongo busobola okuzuukusa obusimu bwonna awatali kutaataaganya.

Wabula ng’ebintu ng’endwadde n’emyaka bisobola okukosa emaanyi gano oluusi ne weesanga toyagala ate oluusi ng’oyagala.

Mukisa agamba nti mba nti tewali ngeri gye bapimamu maanyi ag’ekika kino naye ggwe asanyusa mukyalawo mu kigwo ky’abakulu n’atuuka ku ntikko kitwale nti ggwe ‘supamaani’.

Ggwe atatuusanga munno ku ntikko akuwa amagezi okunoonya sswiiki ze yonna gye ziri ozinyonyoogere.

Zino osobola okwogerako naye wakati mu kigwo nga bw’omubuuza bw’awulira okutuusa bw’azikulaga.

Muyingo agamba nti abantu bafaanana ebisolo ekika kya Primate omuli amazike.

Bino binyumya akaboozi okunyumirwa so si kuzaala. Era naawe osaanye ofube okulaba nga munno anyumirwa okusinga okukozesa amaanyi agasukkiridde ng’olowoza nti kwe kunyumirwa.

Kuno ayongerako nti abantu ababeera n’amaanyi okusiziira ku myaka, by’akola, by’alya ne by’akozesa. Muyingo abuulirira abasajja okulinda bakyala baabwe bamyumirwe omukwano.

“Twala obuvunaanyizibwa munno gw’olese oddeyo ofube naye omutuuse”. Gwe azuukuka ku makya nga weebase bulungi ne weesanga nga mutaka agaludde ng’omanya nti kiri mulaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera