TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyannemesa okusoma ansuulidde abaana

Eyannemesa okusoma ansuulidde abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

OBULAMU bunyuma olina omwagalwa, era nze ensonga z’omukwano nazitandikira mu ssomero bwe nnafuna omuwala eyanjagala n’atuuka n’okuneerabiza omulamwa gw’okusoma.

Kapya 703x422

Kisembo

Nze Keneth Kisembo, 33 mbeera Mulago,ensonga z’omukwano nazettanira nnyo nga nkyali mu ssomero olw’omuwala omulungi kaalaala gwe nnafunirayo.

Omuwala ono yanjagala awatali bukwakkulizo era ffembi ne twesuubiza ensi n’eggulu.

Naye nga bwe bagamba nti ekiwoomereze kizaala enkenku omukwano gwatuyitirirako okukkakana ng’omuwala mufunyisizza olubuto era bakadde be ne bamumpa muwase kye nnakkiriza era ne tutandika obufumbo olwo eby'okusoma awo we byakoma.

Omuwala ono yanzaalira omwana wange eyasooka era ne kimpa essanyu nti Katonda ampadde omuntu gwe naakaddiwa naye kubanga twali twetegedde.

Okunzaalira omwana kyampa essanyu era nga nkola n'amaanyi okulaba nga tubeera mu bulamu obulungi ne munnange nga bwe twali tuvudde mu ssomero ffenna.

Nakolanga kyonna okulaba nga tubeera basanyufu.

Olw'okubanga munnange nnali mwagala n'obulamu eyannemesa okusoma ansuulidde abaana bwange bwonna, namusaba okunzaalirayo omwana owookubiri awo eby'okuzaala tusooke tubiwummuzeemu tukolerere abaana baffe nga bwe twongera n'okwezimba kye yakkiriza era n'anzaalira omwana owookubiri.

Wabula essanyu lyange ne munnange ono lyakoma awo. yatandika okukyusa enneeyisa nga takyampulira era n'antegeeza nga bw'akooye okubeera nange.

Lwakya lumu n'ansuulira abaana baffe ababiri n'atambula n'agenda ne gye buli kati taddanga mabega naye ate nze nkyamwagala kubanga tetwakola lutalo lwonna era n'ensonga eyamutwala ne wenjogerera sigitegeeranga.

Nsaba ggwe wenna asomye emboozi yange ompe ku magezi kubanga ye mukyala wange nnali nkyamwagala, talina nsonga nnambulukufu gye yawa wabula okusaba obusabi okumukkiriza atambule agende.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.