TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja eyali bboosi namugaana n’antabukira

Omusajja eyali bboosi namugaana n’antabukira

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2019

NZE Irene Nalwoga, mbeera Matugga. Ekisinga okunkaabya amaziga, be basajja batalina mutima gwa busaasizi.

Use 703x422

Nze nazaalibwa ndi mukyala mulema, naye ng’omuntu nange nafuna omusajja ne twagalana era n'anzaalamu omwana wange omu gwe nneenyumirizaamu nange okubeera omuzadde.

Nga mmaze okuzaala, kitaawe w’omwana yanzirukako era ne nguma ng’omukazi nfube nkole okulaba nga ndabirira omwana wange omu gwe nnali nzadde.

Wano natandika okunoonya emirimu era eno gye nnagwira ku musajja omugagga gwe nnasisinkana ne muyitiramu ennaku gye twali tuyitamu n'omwana wange.

Namusaba anfunire eky'okukola nsobole okufunayo akasente akatono okulabirira omwana wange.

Omwami ono yandaga nga bwe yali ankwatiddwa ekisa era n'antegeeza nga bweyali ampadde omulimu gw'okulabirira awaka we.

Esssanyu lye nafuna olw'omusajja okumpa omulimu lyali likirako ery'omwoki wa gonja era omwami ng’antwala wuwe nga ntandika kukakkalabya mirimu.

Awaka nze nasinganga okubeerangawo n'abaana engeri mukyala w'omwami ono gy'ataabeerangawo nnyo.

Emirimu gyasooka kuntambulira bulungi kubanga embeera yange ey'obulamu yali ekyukidde ddala era nga gye ndaga ndabayo.

Wabula ekyennaku mukama wange yatandika okuntunuza mu nsonga z'omukwano naye ne mutegeeza nga bwe nnali nzize okukola nga nnali siri mwetegefu kumwagala.

Mukama wange yanyiiga era okuva olwo n'atandika okuntulugunya era nga buli lwe yaddanga awaka ng’antuukirako n'agezaako okunkaka akaboozi ate nga kw'atadde n'okuntiisatiisa obutagamba mukyala we.

Omusajja yankuba, yakola kyonna okulabanga nneegatta naye naye bwe yalaba ngaanidde ddala n'asalawo okungoba era teyampa yadde ekikumi wabula ebivumo.

Bwentyo bwe nnafi irwa omulimu era y'ennaku gyendimu olwaleero kubanga omusajja yali ansuubizza ensi n'eggulu ssinga nzikiriza okumwagala kye nagaana.

Mbadde nsaba abasoma emboozi eno okumpa ku magezi ge nnyinza okukozesa okulabanga nfuna obw'enkanya mu nsonga zino kubanga omusajja yantulugunya nga kw'atadde n'okunyaga ssente zange ze nnali nkoledde mu bulumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...