TOP

Omukazi yantamya amaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2019

Omusajja yenna libeeera ssanyu na kirooto kye okufuna omukyala kw’awummuliza ebirowoozo naye nze ate nze okusinziira ku mukazi gwe nnafuna kye yantuusaako kiyinza okumbeerera ekizibu ennyo okwesiga ekitonde kyonna ekikazi.

Mpaako1 703x422

Nze Musa Buwembo 43 nga nnali mutuuze w’e Kajjansi. Natuuka ne nfuna omukyala nga tukwatagana bulungi nnyo ng’abaagalana bwe balina okubeera era ne tuwangaala naye okumalira ddala ebbanga lya myaka 17 ne tuzaalayo n’abaana basatu.

Ebbanga nga lyetoolodde natandika okuwulira ebigambo okuva mu bannange nti mukyala wange yandiba ng’alina omusajja omulala gw’apepeya naye nga siriiwo, ekintu kye saasooka kukkiriza anti nga ndaba mukyala wange tuwangadde ebbanga eddene ddala. Nasalawo okunywerera ku mirimu gyange egy’obusuubuzi nsobole okuweerera n’okulabirira obulungi abaana bange.

Engeri gye kyali nti twali bapangisa ku mizigo, nasalawo nnoonye ssente nkyuse ku bulamu era nafunayo pawundi 8000 nga nnina ekigendererwa ky’okugula poloti nzimbe ennyumba yaffe ey’amaka.

Wabula ku ssente zino natoolako pawundi 200 ne nziwa mukyala wange n’abaana ne bagendako mu kyalo era nga eno baamalayo ennaku ssatu.

Nze ku pawundi ze nnali nsigazzaawo nasalawo okugulako poloti wabula ne simanya nti kuno kwe kwali kugenda okuva obuzibu obwasattulula amaka gaffe.

Ku poloti gye nnagula bwe twatuuka okukola endagaano eno nagiteeka mu mannya gange n’abaana nga simanyi nti kino omukyala kigenda kumunyiiza okutuuka okuyombanga buli lunaku okumbuzaako emirembe.

Buli lwe natuukanga ekiro nga mukyala wange atandika okwekwasa obusongasonga obwamuviirangako okuyombanga olutatadde nga ne bwe nasirikanga nga waakiri abeera ancokooza era waakiri tuyombe ng’ambuuza ssente mmeka ze nnafuna na wa we naziteeka.

Bwe nnalaba kimpitiriddeko nange nasalawo nfune eky’okukola ekiyinza okuwugula ku bwongo bwange nve mu mbeera ey’okweraliikirira era wano we nnatandikira okunywa omwenge.

Eby’omukyala okuyombanga nnali mbigumidde kubanga ne bwe yayombanga nga simuddamu okutuusa obudde bwe bukya, naye ekyasinga okunneeraliikiriza ye musajja wa poliisi eyali atandise okusigula mukyala wange ate okutandika okuntiisatiisanga kye nnalowooza nti kya bulabe nnyo gyendi.

N’ekyasinga okummalamu amaanyi n’okutuuka okudduka awaka ye mukyala wange okufuna olubuto mu musajja ono owapoliisi era n’amuzaalira n’omwana.

Engeri gye kiri nti omwami ono nnali mmutya nasalawo okubeesonyiwa mbalekere emirembe nange nsigaze obulamu.

Ekirala ekyannyiiza ye mukyala wange okugenda ng’ategeeza ab’ehhanda zange nga bwe natabuka omutwe mbu nsula mu kibuga nga ntaayaaya ne yeerabira nti ye yabindeetera.

Kati abaana bange be nnazaala mu muktyala ono tewakyali n’omu akkirizibwa kujja kundabako.

Ekirungi basoma ng’omukulu amaze S6, omulala ali mu S4 n’asembayo ali mu S2.

Essaawa eno ndi mu kusoberwa kubanga kati sikyalina we nsula n’omulimu sirina nsabiriza busabiriza.

Awo we nsabira omuntu yenna alinayo omulimu gwonna nze wendi nsobola bulungi okukola.

Osobola okukuba ku ssimu ya mukwano gwange eya 0705372169 ne nnyambibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

King James emezze abanunuzi

King James emezze abanunuzi

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...