TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala mukulu takyanfaako: Nswala okuleeka amaka gange amakulu naye sirina mirembe!

Mukyala mukulu takyanfaako: Nswala okuleeka amaka gange amakulu naye sirina mirembe!

By Musasi wa Bukedde

Added 17th April 2019

NNINA omukyala omukulu n’omuto. Omukyala omukulu yali anfaako nnyo naye bwe nafuna omuto, kati omukulu tafaayo n’akamu. Era jjuuzi yaηηamba nti oba kisoboka ηηende mbeere ewa mukyala muto ate nga nze nkyamwagala.

Citifmonline 703x422

Okufuna omukyala owookubiri yali nsobi kubanga namufunyisa olubuto abazadde ne baηηamba mutwale.

Buli kimu nkikola mu maka gange gombi naye omukyala omukulu yeeremye ayagala mmuviire ate nga tulina abaana abakulu. Nkoze ntya? Nswala okuleeka amaka gange amakulu naye sirina mirembe.

OKUSOOKERA ddala teri mukyala ayagala kufumba na muggya we. Ate ennaku zino abakyala abasinga kino kibayisa bubi. Edda abakyala embeera eno yali tebayisa bubi nga tebalina bwe basobola kugaana.

Newankubadde kyabalumanga naye tebaalina we boogerera. Kati omulembe ogwo gugenda guggwaawo mpola.

N’ekirala newankubadde wafunyisa omuwala olubuto abazadde tebasobola kukuwaliriza kutwala muwala.

Obuvunaanyizibwa bw’obeera nabwo kulabirira mwana n’ekirala ne nnyina w’omwana oyinza omuzzaayo mu ssomero bw’aba yafuna olubuto ng’akyasoma.

Kati bw’ogamba nti abazadde baakuwaliriza tebiriiyo kubanga oli muntu mukulu era weesalirawo.

Kirabika naawe wali oyagala omuwala ono. Ensonga ze mulimu oluusi abazadde basobola okubayambako.

Kubanga omukyala omukulu alina okumanya nti ensobi zibeerawo mu maka era nze ndaba nti yandisigadde mu maka ge n’akuza abaana be.

N’ekirala naawe omwami okyamwagala ndowooza nti ssinga afuna okubuulirirwa anaaguma n’afumba.

Nkubira ku ssimu 0772458823 twogere kusonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.