TOP

Omusajja abba emmere kkoyi !

By Musasi wa Bukedde

Added 17th April 2019

Nze Harriet Nalwanga 25. mbeera Kaleerwe . Twasisinkana ne baze mu 2014 e Makerere Kavule ng’asomba sikulaapu, nze nga nnina omudaala gw’ennyannya ku kaleerwe.

Wano 703x422

Ono yali omu ku bakasitoma bange abangulangako ennyannya era mu mbeera eyo yatandika okumpaana n’okunsuubiza eggulu n’ensi ssinga nzikiriza okumuganza.

Yantegeeza nti engeri ffenna gyetuli mu mbeera ey’okweyiiya bwe tuneeyagala ne tugatta ssente ze tukola, tujja kukulaakulana.

Nalaba nga byayogera bya magezi okusinga ku basajja abazzenga bankwana, bwentyo saamulwisa nga nzikiriza nga tutandika kwagalana.

Nava ne mu kazigo ke nnali mpangisa ne ntandika okubeera naye newankubadde tetwalina ssente naye nga ffenna tuli banyiikivu mu kukola.

Baze ng’akeera n’agenda okulonda sikulaapu we nange ne hhenda ku mudaala gwange ku Kaleerwe.

Nga bwe yali ansuubizza nti tukole tutereke ssente twekulaakulanye baze yasooka ng’anteresa ssente nga bwe ngattako n’ezange tusonde tusobole okugula ku bintu by’omu nju.

Wabula kino yakikola emirundi bbiri ebbanga eryaddako nga bwe mubuuza ku bya ssente ngakambuwala kyokka ng’ezange ayagala okumanya wa weziri. Nalaba atandise kweyisa bwatyo ne mwesonyiwa wabula nga nange ssente zange simuganya kumanya gye nzitereka.

Wabula lumu nagenda okukebera ssente zange gye nazitereka saasanga yo wadde 100/- ne mubuuza ne yeegaana n’agattako n’okunkuba.

Oluvannyuma omulimu yaguvaako nga takyayagala kukola nga nze ntandise okulabiria awaka n’okusasula ennyumba, ate endala ng’azitwala nazinywamu omwenge ate nakomawo n’ankuba okubula okunzita.

Ebyo byonna nali mbigumidde naye yafuna omuze gw’obubbi ng’abba n’emmere mu ntamu.

Yageranga tumaze okulya nga tuleseemu ay’abaana gye banaalya kyokka nga musajja mukulu ono agiddako n’ajibba.

Nga bwe mugambako nga yeegaana n’ankuba nti muswaza nti abba emmere.

Jjukira nti twali tufunye abaana naye nga tampa wadde buyambi wadde fiizi. Nagenda okulaba ng’omuze gukula bukuzi ne nsalawo okumuviira.

Nsaba abasomi ba bukedde okunyamba nga bayite ku nnamba eno 0756647500. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono