TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki bwe ηηendako ebbali ebintu byawuka?

Lwaki bwe ηηendako ebbali ebintu byawuka?

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

BWE mbeera n’omukyala ow’awaka ntuuka mangu ku ntikko ate nzannya lawundi emu yokka ng’ate mukyala wange mmwagala. Naye bwe ηηendako ebbali bibeera byawufu. Ssenga kino kiva ku ki?

Ssenga1 703x422

ABAFUMBO bangi balina obuzibu buno era kireese obwenzi mu maka.

Ekisookera ddala, okwenda ng’oli mufumbo si kirungi. Oba olina obuzibu mu maka go, olina okugezaako okulaba nga buggwawo.

Okwenda kwonoona amaka era obwesigwa mu maka bufa.

Abafumbo bangi okwegatta batuusa mukolo, okwegatta ssinga tekubeeramu kuyiiya oba okukyusaamu, naawe weetamwa anti tewaba kipya.

Bwe weegatta okutuusa omukolo weesanga nga munno tomulowoozaako era ekigendererwa kubeera kutuuka ku ntikko. N’ekirala bw’ogenda ebbali, ogenda okudda awaka ng’oli bulungi era otuuka okwegatta ng’otuusa mukolo.

Ekirala ebbali olina okulaga obuvunaanyizibwa n’okumumatiza ate nga ow’awaka ye wamumanyiira era okola ky’oyagala.

Naye obwenzi si bulungi era bwonoonye amaka mangi. Oba waliwo ebitagenda bulungi, mulina okubitereeza ne mukyala wo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...