TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi yabaliga n’antamya omukwano

Omukazi yabaliga n’antamya omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

NZE Moses Muyingo, mbeera Busega 24 nga nzaalibwa Gwanika Kitooro mu disitulikiti y’e Mubende. Nasisinkana mwanamuwala Namata mu 2013 e Mubende.

Pala 703x422

Ebiseera ebyo nali nzimba era twali tugenze kuzimba okumpi n’ewaabwe.

Twamalayo wiiki era eyo gye namulabira nga muwala mubalagavu, alina empisa era bwe namulaba ne mwegomba nga njagala afuuke maama w’abaana bange.

Olunaku luno namutuukirira ne musaba njogereko naye era n’akkiriza era ne twogera ne ntuusa ensonga zange. Nga bw’omanyi abawala, yasooka kugaana era ne muwaamu ku budde.

Nafuna olunaku olulala ne nzirayo era ne nzikaatiriza ensonga yange okutuusa bwe yakkiriza.

Yampa akakwakkulizo nti mba nnina kusooka kumusaba mu bazadde bange. Nabuulirako bazadde bange era ne banzikiriza era ne ηηenda ewaabwe ne nkyala nga bansalidde ebintu bye baali baagala okwali ente, ssente obukadde bubiri, olugoye lwa maama n’ekkanzu ya taata, embuzi n’ebirala era byonna ne mbitwalayo ne bampa omuwala.

Twatandika omukwano gwaffe mwe twazaalira n’abaana babiri. Namata yali muwala mulungi ate nga mukkakkamu, ng’amanyi okulabirira abaana nange ng’anfaako era nga mmwagala kuba naye yali alaga nti anjagala.

Bwe namuwasa twali tubeera ffembi mu kyalo e Mubende era ekiseera kyatuuka obuvunaanyibwa ne bweyongera ne tuteesa nzije e Kampala nkole nsobole okwongera ku nyingiza yange ekintu kye yawagira.

Najja e Kampala ne ntandika okukola nga tuwuliziganya bulungi nga buli ky’ayagala nkimutuusaako ate mu budde era nga buli wiiki muweereza emitwalo esatu.

Ekiseera kyatuuka n’atandika obwenzi nga n’abasajja abaleeta waka nga n’abaana balaba. Ate nga n’olumu abaleka mu nju bokka n’agenda n’abasajja.

Lumu yali aleseemu abaana bokka ababbi ne batubba ebintu byonna mu nju ekintu ekyanyiiza.

Nakwata abaana bange ne mbatwala ewa maama wange era ne nsalawo okumwesonyiwa. N’okutuusa kati nakoowa ensonga z’omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo