TOP

Nkole ntya okufuna obwagazi?

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Nze Sandy Lukwago e Rutaba. Njagala kumpa ku magezi. Sikyalina bwagazi mu bya mu kwano. Nkole ntya?

Ssenga1 703x422

SANDY oluusi embeera eno ebeerawo nnadala ng’ofunye obutakkaanya.

Olumu omwagalwa wo ayinza okukola ekikyamu oba ky’olowooza nti tasobola kukikola embeera eno n’ejja.

Embeera eno eruma nnyo era n’ekuleetera okukyawa n’obwagazi ne bubula. Ekirala oluusi oyinza okuba n’endowooza nti abakyala abasinga benzi.

Mu mbeera eno abakyala otandika okubalaba obubi era n’obwagazi ne bubula. Naye oba oli mufumbo ndowooza waliwo ensonga.

Era kirungi embeera eno okukyuka kubanga kisobola okuleeta obuzibu mu maka.

Ate abasajja abalala beesalirawo nga balaba omukwano oba abakyala babatawaanya ne babivaako. Era ne beewa ekiseera naye oluvannyuma bakyuka ate oluusi basigala mu mbeera eyo.

Okusalawo teri akugaana naddala ng’oli muntu mukulu osalawo okukola ekikusanyusa. Kale mwana wange weetegereze embeera gy’olimu. Kubanga obutabeera na bwagazi ng’osazeewo tekirina mutawaana.

Naye obuzibu kwagala kubeera na bwagazi naye nga tobulina ate nga tomanyi nsonga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo