TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okukola kunnemesezza obufumbo bwange

Okukola kunnemesezza obufumbo bwange

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

NZE Ruth Nabukeera 28, ndi mutuuze w’e Gombe ekisangibwa mu disitulikiti y’e Wakiso.

Beera 703x422

Nnina abaana mukaaga be nazaala mu baze eyanneefuulira oluvannyuma lw’okutandika okukola obupakasi ku kyalo nsobole okumuyambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa mu maka. Okulaba baze, nnali mbeera wa ssenga e Kyamufumba mu Luweero.

Obudde obwo nalina emyaka 18 nga sikyasoma. Ekyasinga okumpaliriza okufumbirwa omusajja ono, olumu nali mbeerako ewa muka kitange ng’embeera gye mpisibwamu si nnungi.

Mu March wa 2008, yajja nakyala mu bakadde bange mu butongole ekyansanyusa ennyo era ne nneeyongera n’okumwagala.

Mu biseera obufumbo bwaffe bwali mu mirembe myereere ekyalaga nti ebiseera byaffe eby’omu maaso bitangaavu.

Mu 2012 nga maze okuzaala omwana waffe owookubiri baze embeera ze zaatandika okukyuka ne tutandika okuyombagana buli kiseera.

Ekimu ku byamutabula kwe kutandika okukola ogw’obupakasi ku kitundu kwe twali tubeera. Kino kyamunyiiza era n’angoba mu maka ge.

Nasooka eby’okukola ne mbivaako kuba nnali njagala obufumbo bwange. Wabula omuwendo gw’abaana be twali tuzadde bwe gweyongera n’obuvunaanyizibwa ne bweyongera,era nawaliririzibwa okuddamu okukola.

Baze yatabuka nava n’awaka okumala ennaku ‘Abantu kye bagamba’ ssatu era bwe yakomawo yasibako ebintu byange n’abifulumya wabweru nti mmuviire.

Kw’olwo ensonga zaggweera ku poliisi e Matugga okusobola okusigala mu maka n’abaana bange.

Mu kiseera kino takyampa bulungi buyambi bwa waka n’okuweerera abaana. Nze nnina okulaba nti bagenze ku ssomero wamu n’okulya .

Nsaba abasomi b’olupapula lwa Bukedde abalina omulimu oba ssente okunziruukirira ku nnamba y’essimu; 0751472239.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo