TOP

Omwenge gwawasa baze n’ansuulawo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

NZE Sarah Birungi 27. Mu 2011 nafuna omusajja Patrick 32 n’ankwana, olw’obugambo bwe yambuulira obwantengula omutima n’akkiriza ne tubeera ffembi.

Suna 703x422

Mu kiseera kino nga tuli mu mukwano omuzito, nga teri kyakola nga tamaze kunneebuuzaako, awaka nga buli kimu akigula, abaana abaweerera nga nange ku nnaku enkulu angulira engoye, bino byannyogera amaanyi ne muzaalira omwana asooka, owookubiri n’owookusatu.

Wabula mu 2017 yatandika okunywa walagi w’omu buveera eyali adda awaka ong’obudde bukyali n’atandika okuyingira matumbibudde nga bw’omunenyako ayomba nti omukazi talina buyinza bubuuza musajja gy’ava oba gy’alaga kino yakikola okumala ekiseera ng’olumu amanyi n’okunkaka omukwano.

Mu 2018 eyali akomawo n’atandika okusula mu bbaala n’abakazi. Nasalawo okuguma nkuze abaana bange wabula eby’omukwano ne ηηaana okuddamu okubeera naye olw’abakazi bakyusa ng’engoye.

Embeera yayongera okwonooneka, abaana abaali basoma nakomya okubaweerera kati batudde waka n’emmere takyagula.

Nagenda okulaba ng’abaana bagenda kufa enjala ne nsalawo okutandika okulonda ebyuma ebikadde (Scrap) okusobola okufuna ssente z’okulya.

Kati mu mwezi ayinza okudda awaka omulundi gumu bw’aba ayagadde n’abawaayo 10,000/-.

Bw’omugamba ku ky’okuweerera abaana akuddamu kimu nti ye nga teyasoma naye waali mulamu.

Kati buli lw’ajja awaka ayomba mbu kirabika nafunayo abasajja naye omuntu atagula mmere waka, ataweerera baana mba sisobola kuddamu kumuzaalira. Ekisinga okunnuma tusula mu muzigo mupangise ng’oluusi okutusasulira luba lutalo, abaana kati bakeera kulonda byuma bikadde (Scrap) okufuna ssente z’okulya. Bannange mpulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo