TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssaalongo ayankubya muggya wange anziruseeko

Ssaalongo ayankubya muggya wange anziruseeko

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti y’e Rukungiri.

Blur 703x422

Eno gye nnava ne nzijja e Nateete gye nnakoleranga ogw’okulera abaana mu maka agamu. Nakolera emyaka ebiri ne nsalawo ntandike okwekolera egyange.

Ensimbi ze nnafuna mu bwahawusigaalo nazipangisaako omuzigo ne nsuubulamu n’obummonde bwe nnatundiranga ku Kaleerwe. Eno gye nnasisinkana Bowazi omusiisi wa capati.

Yansaba omukwano n’ambuulira bwe yalina abaana babiri. Yantegeeza nga bwe yayawukana ne mukyala we nti era yali asula bw’omu. Kino kye nnali njaayaanira okufuna, musajja atalina mukazi era omukwano gwaffe gwakoleera ne gulanda ng’oluyiira.

Omuzigo gwe nnali mpangisa ku Kaleerwe yagunzigyamu n’antwala e Wandegeya ku Veteran gye yali apangisa.

Twagendanga ffenna ku Kaleerwe kyokka nga nze musooka okudda awaka buli lunaku. Nali naakamala naye emyezi ena nga nfunye n’olubuto lwa myezi ebiri mukyala we n’ansanga mu muzigo n’ankolako effujjo.

Eka naddayo kawungeezi ne nzigula oluggi nga sirina kye nneekengera. Ssaamanya ng’omukyala azaala abaana ba baze ababiri gwe nnategeerako erya Joan yali anteegedde mu baliraanwa.

Zaali eyo mu ssaawa nga ttaano ezekiro n’akonkona oluggi. Nalowooza baze y’akomyewo ne mbaguka okuluggulawo.

Olwabandula oluggi omukazi n’angwa mu bulago antuge. Yalina akaso mu ngalo ke yakozesa okunfumita ku kibegaabega.

Twasiitaanira ddala okutuusa baliraanwa lwe baatutaasa. Oluvannyuma banzirusa mu ddwaaliro e Mulago kyokka baze yamala ennaku bbiri nga talabika. Joan yamala kuddayo naye n’alabika.

Olwo lwe nnamanya nti Joan yali mukyala wa baze ow’omu kyalo e Bushenyi nga baze yagendagayo buli mwezi wadde yannimbanga ensonga ezitali zimu nti ze zaabanga zimututte.

Olubuto lwali luweza emyezi mukaaga ne ngwa ku makerenda mu nnyumba.

Gaali gakukuliriddwa mu kibokisi wansi w’ekitanda. Omutima gwankubira nti osanga baze yalimu ekirwadde kye yali tayagala mmanye.

Amakerenda nagatwala ku kalwaliro omusawo n’antegeeza nti gaali gamiribwa balwadde ba siriimu.

Yampa amagezi neekebeze era ne nkizuula nga nalina siriimu era kati ndi ku ddagala.

Bwe yava ku mulimu namutegeeza omusawo bye yambuulira kyokka yayomba buyombi n’okumbuuza oba kyali kipya okulaba ku makerenda nga ago.

Oluvannyuma nazaala abalongo Nakato ne Babirye kati abaweza omwaka n’emyezi esatu. Kati wayise emyezi ena nga baze adduse andese mu muzigo.

Sikola, ne nannyini nnyumba gye mpangisa andagidde mmuviire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo