TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy’otetenkanya owa laasitiika eziragaye

Engeri gy’otetenkanya owa laasitiika eziragaye

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

BW’OMANYA nti laasitiika zaagaziwa weeyunire nnyo sitayiro ya misonale, ate weewale ez’okukutama n’omusajja okusinziira emabega.

Pata 703x422

Omusajja ng’aleegudde ‘labbabbandi’. Laasitiika z’omu bukyala bwe ziggwaamu zina tezikyakwata.

Ekirala, ggwe omusajja bw’omanya nga munno alagaye, weewale sitayiro ezaawula ennyo amagulu, kubanga zireeetra ebinywa okuta ennyo.

Kozesa ezo z’olaba nga zimuwumbawumba, mujja kumalako. Wabula omukyala okwewala embeera eno, weerwaneko mangu ofune engeri y’okweddaabiriza. Eddagala erifunza n’otereera gyeriri ng’erimu liba lya kutuulamu n’eddala nga lya kusonseka mu bukyala okusinziira bw’oyagala okukikola.

Hamida Namatovu nga naye abudaabuda baagalana mu by’omukwano agamba nti laasitiika zisinga kugasa mukazi, wadde nga n’omusajja aba azaagala.

Omukazi buli lw’amiima omusekuzo muli awulira bulungi era n’obuswandi ne bweyongera kubanga munne abeera amuwulira bulungi engeri gy’asuukiira olwo ate obwagazi ne bulinnya buto.

Ssinga kino akikola bulungi tayinza butatuuka ku ntikko ya mukwano, sso nga n’omusajja abeera anyumirwa nga munne amunywezezza bulungi.

Dokita Serwadda agattako nti okugaziwa kw’omukyala kya bulijjo era nga kiva ku mbeera zino; Okuzaala; Abakyala abamu bapasuka nga bazaala kale ssinga omusawo teyeetegereza gw’azaazisizza kulaba wapasuse n’atamutunga ayinza okusigala ng’agaziye.

Ekirala omukyala bw’azaala abaana abangi ebinywa (muscles) ebiyitibwa ‘pelvic diaphragm’ binafuwa be bigaziwa.

Mu nzijanjaba y’ekisawo omuntu anafuye ebinywa asobola okukolwako ekiyitibwa ‘plastic surgery’ ne babisika okudda mu mbeera yaabyo ey’obutonde naye nga kino tekitera kukolebwa wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo