TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe nnali njagala namusanga na mulala

Gwe nnali njagala namusanga na mulala

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

Nze Sadam Ssempala. Ndi mutuuze w’e Miseebe mu ggombolola y’e Bulera mu disitulikiti y’e Mityana.

Untitled3 703x422

Mu biseera we nnavubukira nasalawo okutandika okunoonya ssente nange ntandike obulamu obupya nfaananeko bavubuka bannange abaali balinamu ku kasente era kino kyampaliriza okuvaako ku kyalo kwe banzaala ne ngenda ku kirala ekiyitibwa Ttamu ekisangibwa e Mityana ku luguudo oludda e Kampala.

Eno nasisinkanayo omuwala nga anyirira okukamala, kino kye kyantengula nange okubeerako obugambo bwe musuulayo.

Ekiseera we nnamusisinkanira yali alina omuzigo we yali apangisa era nga kyambeereranga kyangu nnyo okugendayo ewuwe buli lwe naabeeranga njagadde nga anti yali yangamba nti talina musajja yenna okuggyaako nze.

Waliwo olunaku olumu lwe twateesa obulungi n’omukyala ono nga nnina okumusisinkana era nange olunaku bwe lwatuuka ne ntambula mpolampola nga bwe nneesunga okusisinkana omulungi wange nga bwe twali tulagaanye.

Ekyammala enviiri ku mutwe, bwe natuuka ew’omukyala ono nakonkona ku luggi nga era bulijjo bwe nakolanga nga ntuuseeyo kyokka ate ku luno teyavaayo kunzigulira.

Bwe nnakonkona nga tewali avaayo nga ate oluggi luggaliddwa munda ekirowoozo kyanzijira mu bwongo nti alabika alimu n’omuntu omulala.

Bwe nnalaba nga biri bwebityo nasalawo okulekeera wo ne nsirikira ku lujji okumala akabanga era ndowooza nti baalowooza nti nagenze, nagenda okuwulira ng’amaloboozi amalala nga gaddamu okuvuuvuuma era wano we nnakakasiza nti alimu na musajja mulala.

Oluvannyuma lw’okukakasa, omutima gwange gwebuulirira gwokka ne ntambula nenvaawo nga mpulira obusungu bunzita kubanga nalowooza nti bwe nsigalawo nnyinza ate okukola musajja munnange oba omukazi ono ekikyamu.

Okuva ku ekyo ekyantuukakao nasalawo okuviira ddala ku bawala abato kubanga bayaaye era kati nakkakkana nga bwe nninda lwe nafuna omutuufu mu kiseera ekituufu olwo nange nziremu okudda mu mukwano omupya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...