TOP

Omwana asembayo ansobedde

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2019

NNINA abaana bataano naye omwana wange asembayo ansobedde, alina nnalubiri (sickle cell). Tetuva mu ddwaaliro. Kati omukyala ayagala kuzaala baana balala naye nze ndaba ng’abaana batumala ate n’omukyala akuze.

Ssenga1 703x422

NG’OLABYE n’omwana, naye obulwadde bwa nnalubiri olina kufuna buyambi mu ddwaaliro.

Abaana abalina obulwadde buno batera okulwala naye ky’olina okukola olina kusooka kugenda mu ddwaaliro.

Waliyo n’ekibiina eky’abazadde abalina abaana abalwadde ba nnalubiri. Ekibiina kino kiri Mulago era abazadde bangi abalina obuzibu buno bakirimu.

Bw’obeera mu kibiina kino, oyiga bingi ebikwata ku nnalubiri ate n’omanya nti toli wekka. Fuba okuyingira ekibiina ekyo osobole okulabirira omwana oyo obulungi.

Eky’okwongera okuzaala mulina okukyogerako mwembi naye oba ogamba nti omukyala akuze, awo obeera mutuufu kubanga bw’ozaala ng’okuze emikisa egy’okufuna obuzibu gyeyongera.

Abalala baagala okuzaala bwe bamanya nti olina omukyala omulala gw’oyagala olwo ne basalawo okuvuganya.

Yogera n’omukyala ono akuwe ensonga lwaki ayagala okuzaala. Osobola n’okweyambisa omusawo n’ayogerako naye n’amubuulira obuzibu obuli mu kuzaala ng’okuze.

Nze ndowooza, omukyala ono okubeera n’omwana alina nnalubiri alowooza nti osanga agenda kufa kati ate ng’ayagala abaana bataano.

Endowooza eyo si nnungi kubanga abazadde abamu bakola obugayaavu ku baana ne batuuka n’okufa ng’ate abalwadde ba nnalubiri bakula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...