TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yandekera omwana alina ebituli ku mutima

Omusajja yandekera omwana alina ebituli ku mutima

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2019

ABASAJJA bangi naye okufuna omutuufu ate amanyi obuvunaanyizibwa bwa taata, olina kusaba Katonda amukuwe.

Dd 703x422

Nanyunja ne bbebi we omulwadde.

Ggwe nnazaalamu abaana ababiri bwe yamanya nti owookubiri alina ekituli ku mutima n’atuviira. Nze Allen Nanyunja 36, mbeera Nansana Ganda.

Taata w’abaana yali ddereeva wa takisi. Yali abeera mu maka gage kubanga yansanga nazimba akayumba kange mwe nabeeranga n’abaana bange abasatu be yansanga nabo.

Twabeera naye ne tukola ne tugulayo n’ettaka nga nange nateekako ssente zange eziwerera ddala kuba ekiteeso nze nakireetanga njagala tuzimbe we tunaabeera.

Bwe nafuna olubuto olwokubiri, omwami wange yatandika okwecanga n’ekyapa ky’ettaka n’akitwala gye saamanya.

Yatandika okuneecangirako nga bwe yafunye ennyumba era agenda kunviira.

Yatandika okuneewerera okuntuusaako obulabe n’okunzita era mu kutya okwo, namusaba agende kuba yansanga mu maka gange.

Mu kwogera okwo, yankuba n’ansamba ne ngwa wansi ne ntandika okuvaamu omusaayi.

Mu kifo ky’okunnyamba, yadduka era bwe nafunamu ku maanyi kwe kukuba enduulu abantu ne bajja ne bannyamba okuntwala mu ddwaaliro.

Eno nnamalayo wiiki kuba olubuto lwali lwagala kuvaamu ate nga lwali lwa myezi mukaaga.

Nagenda okuva mu ddwaaliro, nasanga omusajja yagenda era ne ntandika obulamu obuggya. Nalabirira olubuto lwange ne nzaala.

Naye omwana andwaaliridde okutuusa ku myezi esatu lwe baakizuula nti alina ebituli bisatu ku mutima.

Bwe nazaala omwana, omwami yampaayo ku buyambi era n’asasula ne ssente z’eddwaaliro.

Abadde ampaayo obw’olumu nga bwe musanga mu paaka ng’ampaayo 5,000/-.

Naye okuva lwe yakimanya nti omwana yalwala omutima, yambulako nga ne we yali abeera e Nansana, yavaawo kati simanyi gy’abeera nga ne ku siteegi ya Jinja Road kwe yali avavugira yavaako.

Mu ddwaaliro bansabye obukadde 35 okumutwala e Buyindi okumulongoosa kyokka nninawo obukadde 2 bwokka.

Nsaba abazirakisa okunnyamba nsobole okutaasa obulamu bw’omwana wange kuba ndaba nkomye. Ndi ku ssimu 0759603540 oba 0779603540 eri mu mannya ga Allen Nanyunja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...