TOP

Muka muliraanwa yasigula baze

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2019

BAZE gwe nnayagala ne ntuuka n’okumuzaalira abaana yambonyabonya n’abaana bange ne ntuuka n’okusula ku kkubo.

Wave 703x422

Nabagesera n’omu ku baana be. Ono y’ew’omwaka ogumu.

Nze Angel Nabagesera nga nnina abaana basatu be nnazaala mu baze kati anaabidde mu maaso n’angoba ne mu maka ge twazimba ffembi kuba ne bw’andaba nga nkyama we tubeera ng’ankwatira amayinja.

Twalabagana ne baze mu 2008 nga nkyali ku luguudo lw’e Ntebe e Kajjansi gye nnakoleranga mu CAFÉ ne mobile money.

Omukwano gwaggumira ne muvaamu olubuto lw’omwana ne tukkaanya tubeere ffembi.

Twasooka kupangisa nnyumba e Nateete. Yafuna ensimbi okuva mu mmaali gye yagabana ku mugenzi kitaawe, ne mutuuza ne ntema empenda ez’okuzimba amaka gaffe tuwone obupangisa. Wano we twagulira poloti e Nalumunye.

Yampangira edduuka mu kibuga ne nsuubuza ensawo z’omu ngalo.

Ensimbi nazikuηηaanya ne tuzimba ennyumba era amangu ddala ne tugiyingira.

Ssaamanya nti okuyingira ennyumba ate lye lyali ekkubo eritwawukanya ne baze. Okumpi n’ennyumba waaliwo omukyala eyatwawukanya ne baze.

Omukazi oli yali mufumbo naye yanjooga wamma ne neetamwa anti nga bayinza okutambula ne baze ne bagenda nga ndaba era ne badda nga ndaba.

Bino byonna nabigumira era nga siyinza kubibuulira bba kuba baali mu mukwano mungi nga nze okubyogera mba ntabudde amaka gaabwe.

Ku Nalumunye yalinako baganzi be babiri. Lwe nnasanga akapakiti ka kondomu mu mpale ye, kyankuba wala kuba kaalimu kamu nga kiraga nti obulala yali abukozesezza.

Bwe yakomawo ne mmugambako nalinga akubye ejjinja mu njuki, omusajja yankuba ne bizinensi y’ensawo n’agingobamu nti muviire ne mu maka kyokka nga nnali lubuto lukulu.

Okuva olwo sadda mu kibuga kukola kyokka ne gwe yawa bizineesi saamumanya.

Kati omwana asembayo aweza omwaka gumu ate abakulu bbo tebasoma. Bwe mmukubira essimu okumusaba obuyambi tagikwata.

Ensonga nazitwalako ku Poliisi y’e Katale Bukwenda ne nzigulawo omusango gw’obusamabattuko mu maka (Domestic Violence) ku fayiro SD 12/22/10/2018 kyokka nabyo tebannyamba.

Abaana abakulu nabatwalako mu kyalo ewa maama kyokka baali baakamalayo ebbanga ttono maama n’afa.

Kinnuma abaana bange obutasoma kuba bannaabwe baba bagenda ku ssomero ng’abange bazannya.

Nsaba abazirakisa bannyambe waakiri nfune omulimu ndabirire abaana bange. Ndi ku ssimu nnamba 0751775449.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.