TOP

Eyanoba ayagala kudda

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

MUKYALA wange yanoba bwe yamanya nti ssente ziweddewo. Ennyumba ne ofiisi gye nnali nkozesa baabitwala nga ne fiizi z’abaana sizirina era abaana baatuula omwaka mulamba. Ekirungi omwaka ogwaddirira embeera yakyuka mukwano gwange bwe yankwata ku mukono. Nazimba ennyumba amangu era kati emyaka esatu ntambula bulungi n’abaana basoma. Nafuna n’omukyala omulala naye kati bazadde b’omukyala eyanoba baagala akomewo. Kyokka be baamugamba andeke era baamufunira omusajja Hajji era gyali afumba era yasiramuka. Mbagambe ki? kuba basigala bakyali bazadde gyendi naye muwala waabwe abeere eyo kuba nnamukoowa.

Ssenga1 703x422

Abazadde bangi ennaku zino ssente ziboonoonye. N’ekirala n’omukyala wo naye si mwangu.

Kubanga okuva mu bufumbo kubanga ssente zibuze si kya magezi. Ekisookera ddala abantu batono ababeera mu nsi ng’embeera ya ssente tekyuka.

N’abagagga abalina ssente era nabo babeera mu mbeera nga tebalina ssente. Kati okulowooza nti ssente zirina kubeerawo buli kiseera oba weerimbye.

Ekibi abakyala bangi ennaku zino baagala nnyo ssente. Abazadde abo olina okubassaamu ekitiibwa naye babuulire ekituufu nti tosobola kuzza muwala waabwe naye ajja kusigala nga ye maama w’abaana naye nga tokyamwagala.

Omukyala bw’aba ng’alowooza nnyo ssente abeera muzibu era beebo b’olaba ng’ayinza n’okutta bba asobole okufuna ssente.

Kati bw’aba nga yafumbirwa, adda kukola ki? Olaba bwe bakuteeka mu mbeera ey’obutemu.

Oli mukyala era omwami we amanyi nti mukyala we. Ate nga gwe omusigula ng’omukomyawo.

Omukyala bw’oba tomwagala muleke afumbe ewa Hajji. Yasalawo okukuleka n’afuna omusajja omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...