TOP

Lwaki nvaamu omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

BULI lwe nneegatta n’omusajja nvaamu omusaayi, kiva kuki?. Naye amazzi nfuna bulungi era sinnubuka kati omusaayi guva wa?

Ssenga1 703x422

KANO si kabonero kalungi. Omukyala yenna bwe weegatta n’ovaamu omusaayi kitegeeza waliyo ekikyamu mu bukyala oba mu nnabaana.

Abakyala ebiseera ebisinga bw’afuna obulwadde ng’enziku, oyinza okulwawo okumanya nti olina enziku.

Kale bw’ekula n’otofuna bujjanjabi, weesanga ng’ereeta amabwa era ne galeeta omusaayi singa weegatta.

N’ekirala waliyo kookolo w’omumwa gwa nnabaana oba owa nnabaana.

Oyo naye aleeta omusaayi nga weegasse. Kati oba tonnubuka era oleeta amazzi go bulungi, kitegeeza nti waliwo obuzibu mu nnabaana oba obukyala.

Genda mu ddwaaliro olabe omukugu asobola okukuyamba okumanya kwe kiva naye olina okugenda ne munno kuba buyinza okuba nga bulwadde bwa kikaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Note 220x290

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala...

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako...

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala