TOP

Landiroodi afuuse ekizibu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

MUKYALA landiroodi afuuse ekizibu. Omukyala ono yali mukwano gwange era nga tunyumya bulungi naye bwe nafuna omukyala, buli mwezi ayagala kunnyongeza nnyumba. Kati simanyi kya kukola kubanga ennyumba eri kumpi ne we nkolera. Mukyala wange aηηamba tuveewo naye ndaba kigenda kunnyiga. Nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

MWANA wange nze ndaba tobala bulungi. Kubanga oba ayongeza ssente z’ennyumba, kitegeeza nti ssente zo bw’ozibalamu zisobola okuba nga zenkana ssente z’ogenda okukozesa mu ntambula ng’ofunye ennyumba endala.

Ekirala ate obufumbo? ze sirowooza nti landiroodi anaakuleka. Agenda kukaluubiriza mukyala wo era naawe okugyako ng’omwagadde.

Yali mukwano gwo kubanga yalina kyagoba, kati alaba ofunye omukyala kitegeeza asobola okwagala obeerewo n’omukyala nga bw’abala ekirala. Oba ayagala omuviire era kwe kwongeeza ssente.

Ono omukyala togenda kumusobola, olina kumwesonyiwa n’omuviira kuba ajja kwonoona amaka go.

Kizibu okugula amaka naye ate osoboola okufuna ennyumba endala. Ate era ssinga ennyumba ebadde yiyo waakiri okumuviira n’ogenda mu nnyumba endala eno n’ogifunira omupangisa.

Omuntu yenna ssinga akutandikako bwati, olina okumanya gy’alaga era ne weewala okukutuusa naye gy’ayagala okukutwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...