TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obulumi n'okunyumirwa abakyala bwebayitamu nga bewundira abasajja

Obulumi n'okunyumirwa abakyala bwebayitamu nga bewundira abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

Obulumi n'okunyumirwa abakyala bwebayitamu nga bewundira abasajja

Bap4 703x422

Omuwala nga bamuteeka ppini mu nnyindo. Yalaze nga yeesisiwadde.

OBULUMI n’okunyumirwa mu bakazi batera okubiwereekereza n’okusiiyiriza. Era kuno (okusiiyiriza) bw’oba obadde okumanyidde mu mbirigo y’omu kisenge ate wulira bino. Embeera yeemu oluusi ng’erimu n’okulumwa abakyala bangi gye bayitamu nga beewundira abasajja.

Wabula yadde guli gutyo abasajja bangi bamalamu bamaama amaanyi abamu ne batuuka n’okuyomba oba okwesooza bwe batabawaana oba okubasiima okunyirira! Kino basinga kukyesigamya ku bulumi bwe bayitamu, ssente ze basaasaanyizza naddala nga tezivudde mu nsawo ya musajja.

Lumu mba ndi ku mbaga wiiki eri eyaggwa, omukyala omu gwe nnawulira bayita Betty n’anyumiza banne ng’ayomba. “Wabula Henry (olwo ng’ayogera ku bba) yadomaMukimanyi enviiri zino nazitaddemu emitwalo gyange 10 naye olusajja olwo terwankiinyeeko nti weebale akaviiri.

Abeere nno nga yataddeko ekikumi kya ssente.. bwe nnazimusabye yazze mu kukaaba lumaamiro (engeri enkoko emaamira gy’ekaaba ng’ogezaako okugikwatako). Weewuunye omuvubuka wa bodaboda eyanzigye awaka ye yampaanye nti ‘Maama Melvin leero nga wayitiridde….. wabula wakoze akaviiri….. kale ate oba kankubye…’ Mu butuufu nawulidde bambi ng’omuvubuka andeese essanyu mu mutima…’’ Omu ku banne be yabadde anyumiza kwe kwongerako nti ‘anti abavubuka ba bodaboda kye bava bakwata abasajja mu liiso…….

Ate abasajja baffe si be baafuuka ba nsindikanjake olwo bwe bagattako obutasiima oba okukuwaanako….. olwo lwaki totetenkanyize awalala. Obulumi abakyala bwe bayitamu nga beewundira abasajja mubaamu okubafumita omubiri n’okugukubamu ebituli, okubeera mu muliro naddala nga bakaza enviiri, okugagambula amasanda oba ‘glue’ akozesebwa okukwasa enviiri, obukoowekoowe n’enjala nga kuko kwe kugattibwa okutuula ebbanga eggwanvu nga babakolako oluusi ne basannyalala.

BAKOLA ENVIIRI NE BAZIMIRIRA EDDAGALA Enviiri: Okusiba oba okukola enviiri kye kimu ku bisookerwako mu kwewunda kw’abakyala. Abazisiba batera kwettanira ‘dread locks, kaanassatu, pencil so nga wabaayo aba twist, abakola straight n’endala. Ezimu ku zino abasinga bagenda okuva mu saluuni ng’olususu lubaluma oluusi n’omutwe nga n’abamu basula batunula olw’obulumi obusukiridde.

Abamu batuuka n’okumira empeke za Panadol oba ‘pain killers’ nga buno bwonna obulumi babuyitamu okusanyusa abasajja baabwe kyokka oluusi ne batakitwala nga kikulu. Bambi waliwo ze bakola (gel) ne zibalemesa okwebaka ne beegolola nga batya okwonooneka naddala nga balina emikolo. Bbo abaakoowa obulumi obwo ennaku zino baasalawo kuzisala olwo ne basigaza kuzikolamu katono ate abalala nga basanirira busanirizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...