TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okwewunda kw’abakazi lwe kukanga abasajja abamu!

Okwewunda kw’abakazi lwe kukanga abasajja abamu!

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2019

Okwewunda kw’abakazi lwe kukanga abasajja abamu!

Kab2 703x422

Okukuba ttatu mubeeramu okulumwa.

WALIWO lwe nagwa mu mboozi y’abasajja okwali Nelson eyali akwanye omuwala eyeekuba ttatu ku kisambi n’okuteeka ppini mu mbugo, ku kkundi so nga ku matu kwaliko nga ssatu.

Yatandika bwati: ‘’Bannange nagudde ku muwala eyankubye (ategeeza okwegomba) mu kivvulu nga yeesaze obugoye ng’aliko n’akasusu ne muweerawo erya Malayika.

Ku olwo twanyuma okumala akaseera ng’ambuuza ebinkwatako nga nange bwe mubuuza ebimusanyusa. Naye yalabika ng’andabyemu omulamwa era oluvannyuma lw’ensisinkano eziwera namumatiza okumutwala e Namboole.

Ekyasooka okunkanga nga mutemye sipeeya ye ttatu y’erinnya lya Rogers gye yali yeekubye ku kisambi. Nasooka ne ηηuma kyokka bwe gwatuuka ‘egindi’ nga nayo waliyo ppini ne binsobera!

Obwongo bwandeetera ekifaananyi nti omuwala yalimu okutabaaza okugulu era obutatya kuswala ate nga gwe mulundi ogwasooka ‘ekyeso’ nayesaamu empiki nga ziizo ‘mutaka’ n’aggwaamu amaanyi era omukwano gwakoma awo n’omuwala ono gwe nabatiza erya ‘Bituli Bingi’.

Abasajja abalinga Nelson bangi nti okwewunda kw’abakyala abamu naddala nga tebali bonna kubatiisa ate mu bafumbo oluusi kiviirako okwekengera munno nga batandika n’okubalowooleza okubeera abenzi abaanaaba ensonyi mu maaso abasobola okweyambulira buli musajja.

Kino kye kimalamu bannakabutuzi amaanyi olw’obulumi bwe bayitamu nga beewunda okusanyusa amaaso g’abasajja kyokka ne batabasiima!!!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...

Buget 220x290

Palamenti eyisizza bajeti ya 2019/20...

PALAMENTI eyisizza bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2019/2020 nga ya Tuliliyooni 40 (Bwe buwumbi emitwalo...

Note 220x290

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala...

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako...

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...