TOP

Nnaalongo ansuulidde abalongo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

NNAALONGO yasooka n’agaana okuzaala ng’embuto azifuna bw’azigyamu kyokka olw’abalongo lwo namuteeka ku nninga n’aluzaala era olwabazadde n’abansuulira nga ba myezi mukaaga. Nze Ivan Kiganda 25, mbeera Seeta Mukono.

Uni 703x422

Nnali nkola gwa kondakita lwakuba ekiseera kyatuuka omulimu guno ne guggwawo.

Mu kukola omulimu guno, mwe nnasisinkana nnaalongo wange Slyvia, gwe mbadde maze naye emyaka ebiri nga namusanga mu wooteeri emu gye nnalyanga ekyemisana mu bitundu by’e Seeta.

Eno gye nnamwegombera ne mutwala awaka anfumbire era bwe nakimutegeeza, yakkiriza afuuke mukyala wange.

Twali twakamala emyezi nga ena n’afuna olubuto olwasooka ne luvaamu naye nga sikakasa oba lwavaamu lwokka.

Yaddamu n’afuna olwokubiri nalwo ne luvaamu awo ne mutabukira ne mugamba nti ‘bw’oba toyagala kunzaalira sijja kukusobola kyokka n’ankakasa nti zivaamu zokka.

Nga wayise ebbanga, yafuna olubuto olwokusatu era ku luno ne muteekako eriiso ejjogi okulaba nga taddamu kuggyamu lubuto lwange okutuusa bwe yatuuka okuzaala ne musindika ewa maama we, e Jinja gye yazaalira.

Bwe waayita emyezi 2, ng’amalirizza okuzaala, yakomawo awaka kyokka bwe yadda yantegeeza nti ku balongo be yazadde Babirye ne Kato ayagalako Kato yekka, Babirye tamwagala kuba bw’amutunuulira alaba ekikula ky’omwana be bayita banakalanga era tasobola kukkiriza kukuza mwana gw’amanyidde ddala nti Nakalanga.

Yagamba nti agenda kufuna engeri gy’amweggyako oba okumugaba.

Wadde ebyo yabyogera, nalowooza nti osanga yali asaaga kyokka nga yali akitegeeza.

Ebbanga lye yamalawo, nga Babirye amwogerako bubi era n’agamba nga bw’ajja okumutuusaako obulabe atambule agende.

Lumu mba siriwo, nagenda okudda awaka nga Nnaalongo agenze ng’abaana abalese mu nju naye era nga Babirye amutuusizaako ebisago era simanyi oba yali ayagala kuleka ng’amusse anti yaleka amumenye omukono.

Nagezaako okumunoonya ne hhenda ne ku poliisi eyannyamba ne tumukwata.

Baamuwa bondi ne bamulagira akomewo ajjanjabe abaana naye saddamu kumulabako kati myezi 2 bukya ansuulira baana.

Abaana beetaaga okuyonsa naye simanyi kyakukola kuba n’omulimu sikyalina kuba n’abaana sirina gwembalekera.

Nsaba alina engeri yonna gy’asobola okunyamba akube ku 0757666919 mu mannya ga Cate Nalubowa oba 0757441070 mu Paul Kitandwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...