TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala yammenya omutima ne mbikoowa

Omuwala yammenya omutima ne mbikoowa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2019

OMUWALA gwe nnayagala ng’annimbye nga bw’atalina musajja yantamya abakazi bwe nabakwata lubona nga benywegera n’omuvubuka.

Limu 703x422

Nze Samuel Ssenkubuege 24, mbeeera Kinaawa Nateete. Ebigambo byanzigwako bwe nnasanga omuwala ono gwe nnali mpadde ebirowooza byange nga ndowooza nti yali anjagala.

Nga buli muvubuka bw’abeera, nnasisinkana omuwala eyali omulungi kalaala mu Kampala ne mwegwanyiza olw’obulungi bwe yaliko nga siyinza ku kyebeera.

Olw’okuba omuwala nnali mwagadde, namusabirawo akannamba k’essimu naye teyali mubi n’akampa olwo ne mmanya nti, ebyange biwedde.

Olwadda awaka nga ntandika kutokota mwana muwala era kirabika olw’ebigambo byennamugamba, yanzikiriza tubeere ffembi ng’abaagala.

Kino kyampa essanyu era buli lwe nabeeranga mu bannange sirwa kwenyumya nga bwe nnina ekimyula.

Omuwala oli yali mubalagavu nga nange oluusi ntyamu olw’agavubuka agamulookeera nga era lumu namubuuza oba yali alinayo omuvubuka ebbali.

Kino omuwala olw’akuwulira yalya obuwuka n’alayira okukomba ku ppaasi nga bwatalina muvubuka yenna bbali era bw’atayinza kungattika olwo nange ne ntambula nga nzimba.

Naye essanyu lyange ku muwala ono, lyali lya kiyita mu lujja kubanga waayita ennaku ntono ne mbasanga n’omuvubuka nga benywegera ekintu ekyannuma ne mukyayirawo.

N’okutuusa olwaleera sikyesiga bawala era n’ebyomukwano nabiwummula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye