TOP

Omuwala yankyawa lwa bwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2019

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula ku muwala eyali ayitibwa Docus eyali abeera e Iganga.

Tuma 703x422

Nasalawo okumusuulayo obugambo bwange n’ekigendererwa eky’okumutengula emmeeme mufuule omwagalwa kuba nnali mwegombye.

Bwe nnamutuukirira, namunnyonnyola ku nsonga zange nga n’ekikulu mu byonna kyali kya kumusaba afuuke mukwano gwange ekintu naye kye yakkiriza.

Okuva olwo, omuwala ono twakolaganira ddala bulungi okumala ebbanga ate nga twali tutegeeragana bulungi kubanga twali twasomako naye mu ssomero lye limu era nga mmumanyi bulungi.

Bwe nnamaliriza okusoma, nnasalawo okuva ewaffe mu kyalo gye nnali mbeera ne nzija e Kampala okunoonya omulimu nkole era tekyantwalira bbanga ddene ne nfuna omulimu.

Emabegako bwe nnali sinnafuna mulimu, omuwala ono yali atera okunsaba ssente naye nga sizirina ate nga ndaba kimunyiiza n’okumunyiga naye nga sirina kyakukola.

Docus bwe yalaba nga simuwa bulungi by’ayagala, yampita n’ahhamba nti siddamu kumukubira ssimu wadde okwogera naye.

Kyokka engeri gye kiri nti omuwala ono nnali mmwagala okukamala, nasalawo okumwegayirira anziriremu naye n’agaana.

Engeri gye kiri nti nnali njagala omuwala ono, nasalawo okunoonya ennyo ssente okusobola okuziweereza omuwala nsobole okuzza omutima gwe naye omuwala yagaana.

Ekyasinga okunnuma ku muwala ono ze ssente ze nnali nfunyeewo okuzikwata ne nzimuweereza nga ndowooza anaabivaako kyokka n’aggyako essimu ye n’okutuusa kati siddangamu kumulabako.

Ate nga n’essimu ye alabika yagikyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze