TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki mpulira sirina maanyi ga kisajja?

Lwaki mpulira sirina maanyi ga kisajja?

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti sirina naye ηηenda okulaba nga ngafuna era nga mmalako. Lwaki nnina ebirowoozo eby’okubulwa amaanyi oba bandoga.

Ssenga1 703x422

SIROWOOZA nti waliyo akuloga wabula gwe weeroga wekka. Abasajja bangi ennaku zino balina ekirowoozo nti tebalina maanyi ga kisajja.

Era bw’obeera oba bw’oteeka ebirowoozo nga bino mu bwongo era weesanga ng’amaanyi tolina.

Anti bw’ogenda okwegatta ng’ekirowoozo kigyamu nti, tolina maanyi kale nga gakubula.

Abasajja abasinga tebamanyi nti obwongo kye kitundu ekisinga omugaso mu kwegatta. Ky’olowooza ky’obeera. Kati gwe newankubadde olina ekirowoozo naye bw’oba ogenda okwegatta tobeera nakyo.

Kale era olina kufuna maanyi ga kisajja. Ebirowoozo by’okubulwa amaanyi oluusi biva ku basajja bwe bawulira oba bye balaba.

Ennaku zino abasawo bangi bagamba abasajja tebalina maanyi ga kisajja. Kati n’abasajja ne balowooza nti tebalina maanyi ga kisajja.

Ate ng’omuntu atalina maanyi ga kisajja yooyo eyatomerwa endiga. Buli musajja waliyo ebiseera nga tabeera na maanyi.

N’ekirala amaanyi g’ekivubuka si ge gamu n’amaanyi g’omusajja omukulu. Lekeraawo okweroga. Olina amaanyi era gamala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi