TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyantwala ku yunivasite yanzitattana

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo ne zibabula.

Funa 703x422

Olw’okuba nti nali njagala nnyo okusoma, eky’obuteeyongerayo ku yunivasite tekyansanyusa.

Wabula mba nkyali wakati mu kusoberwa n’okuyiiya engeri gye nnyinza okweyongerayo ku yunivasite, ne wabaawo omusajja eyankwana era bwatyo n’ansuubiza n’okunnyongerayo okusoma.

Wadde nga yali musajja akuze mu birowoozo, yandya ebwongo.

Ebiseera ebyo nnalina emyaka 21, ate nga ye wa myaka 43. Yandaga omukwano ogw’ekimmemmette wamma ne nfa essanyu anti nga ndaba ekirooto kyange kituukiridde.

Nga wayise ebbanga, nafuna olubuto era natandika okusoma ku yunivasite e Makerere nga ndi lubuto lwa myezi ena.

Wabula ebiseera bye nagenderangako okunywa eddagala mu ddwaaliro, we baakantemera nti nali nafuna obulwadde bwa siriimu, wama gwe ne mpulira ng’ensi enfundiridde.

Wadde nga kyanyiga, nasalawo okukikuuma nga kyama era n’omusajja ono saakimugamba ne nninda okutuusa okuzaala.

Bwe namaliriza okuzaala, nategeeza omusajja ono nga bwe yali ansiize obulwadde kyokka ensonyi n’azifuula obusungu. Yatandika okumpisa ng’embwa, ng’ankuba kumpi buli lunaku, ng’awaka talekaawo ssente za kugula mmere wadde ez’amata g’omwana era nga n’okugenda okusoma, ηηenda ndi muyala.

Mba nnyingira omwaka gwange, ogusembayo ku yunivasite, omusajja ono n’ankasukira ebintu byange wabweru era teyaddamu na kumpeerera kale ne nsoberwa.

Nasalawo okudda ewa maama wange mu kyalo e Lira ne mubuulira byonna ebyantuukako era olw’omukwano gw’omuzadde, maama yatunda ente ze yalina n’ekitundu ku ttaka lye, nansasulira ssente ku yunivasite ne mmaliriza omwaka ogwali gusigaddeyo.

Kyokka baganda bange bangobya omwana wange ne bandagira muzzeeyo ewa kitaawe ekintu kye nakola. Okuva olwo, nafuna obumalirivu era mu mwaka gwa 2018 natandika okutegeeza ensi nti nalina obulwadde bwa siriimu.

Kati ηηenda mu masomero ag’enjawulo okulabula abaana ab’obuwala ku kabi akali mu kwagala basuggaddadi n’obulabe obuli mu butagumiikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze