TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi atagambwako yali antamizza ebya laavu

Omukazi atagambwako yali antamizza ebya laavu

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Civil 703x422

Lubwama

Nze Ibrahim Kato Lubwama 32, mbeera Mukono. Mu July wa 2015, nagwa mu mukwano n’omukyala omu gwe nali ndabidde emyezi nga mukaaga nga mwetegereza.

Yasooka kumbeerera muzibu okukkirizisa, kirabika nga naye yali ayise mu bizibu bingi mu nsonga z’omukwano era ng’alabika yali yagwenenya.

Ku nkomerero y’omwaka ogwo gwennyini, twasalawo okubeera ffena mu mukwano omuzito nga tetusuubira kwawukana naye nga namuzuulako omuze gumu gwa butagambwako era nga bw’omunenyaako mumalira ddala wiiki bbiri nga temwogera.

Ekyo nnakigumira kubanga nnali mmwagala era nga nsuubira nti gye tunaakomya okubeera ffena osanga anaasobola okukyusa mu nneeyisa ye.

Twayagalana era twesuubiza ensi n’eggulu nga tetulina buzibu kubanga twakeeranga buli omu n’agenda akakkalabye emirimu gye, ebiseera ebisinga ye yansookanga okukomawo awaka natetenkanya eby’ekyeggulo ng’omukyala omufumbo bw’abeera.

Wabula wakati mu mwaka gwa 2016, omuntu wange yatandika mpola okukyuka nga byonna bye yali akola ng’omukyala awaka takyabikola nga n’empisa entonotono ze yandaganga zonna zaaggwaawo.

Saalowooleza mu nsonga ndala yonna okugyako ebikoosi by’abakyala bye yali afunye ku kyalo ekyo bye nsuubira nti bye byamuwabya kubanga oluusi bwe nnanyukanga amangu nga mbasanga ku lubalaza ng’emboozi egudde amakerenda.

Nagezangako okumutuuza mubuuze ensonga emuleetera okwecanga naye nga tambuulira okugyako okundaga nti munyiivu.

Mu bbanga lye twamala ffembi, munnange yalina obuzibu bw’okudiibuuda era kino kye kyasingiranga ddala okututabula wabula nga ne bw’omugambako okukomya omuze guno ng’ayomba.

Nagezaako okulaba nga ntereeza obufumbo bwaffe buddemu nga bwe bwali mu ntandikwa naye nga ngiwa nsaano ku mazzi.

Yatandika okuyomba n’ebitaliimu nga ne bwe nkomawo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro aziyita 6:00 ng’agamba nti nva mu bwenzi ate nga si mwangu kunnyonnyola.

Ekiseera kyatuuka ne nemererwa nga ndaba sikyalina kyenziza olwo ng’ atandise okuntiisatiisa okunoba nange ne nkisanyukira munda nga nneebuuza lw’aligenda kubanga nnali nkooye okumwegayirira.

Olunaku lwe yava ewange, nange nakuba gudiikudde era ne nkyusa n’ekifo ne nsegukira gye yali tamanyi.

Yagezangako okunkubira essimu ng’ayagala tuddemu naye nga sikyazikwata.

Ekyanyamba nti yagenda talina lubuto kubanga twali tukkiriziganya tulindeko okuzaala.

Namala emyaka ng’ebiri ng’eby’omukwano mbyenenyezza okutuusa ku ntandikwa y’omwaka oguwedde bwe nafunayo omulala eyampa essanyu era kati afumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi