TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebikemo abasajja bye babeeramu nga bali ne balamu baabwe awaka

Ebikemo abasajja bye babeeramu nga bali ne balamu baabwe awaka

By Musasi wa Bukedde

Added 29th May 2019

ABAKYALA bwe babeera baakatuuka mu bufumbo nga bukyesiimisa batera nnyo okwagala okunyumiza ku baganda baabwe abawala okubalaga emirembe omusajja gy’amuwa n’embeera ennungi gye balimu naddala nga ssente n’omukwano weebiri.

3390516d48ca776633aa2a865ab88d9e 703x422

Obadde okimanyi nti abamu basukkawo ne batuuka ne ku by’omu kisenge ne banyumya ng’omusajja bw’ali omuyitirivu mu kutabaaza ennyago era nti waliwo lw’omutuusa mu ‘ggulu’ ng’ategeeza entikko.

Kye batamanya nti bano be banyumiza nabo batuuka ekiseera ne baagala okugabanako oba okukakasa ku binnonoggo by’omukwano muganda waabwe by’abatendera.

Embeera zino zonna zireetera abawala, ne bwe babeera basoma mu siniya n’okweyongerayo oba nga bakola nga tebannafuna balenzi oba abasajja ababaggya ku luggya, okufuba okukyalako, okuwummulira oba okubeerako ewa muganda waabwe.

Wano abasajja abamu we basinga okusanga okusoomoozebwa era abatasobola kufuga maddu beesanga bakemeddwa ne baganza balamu baabwe.

Waliwo omwami omu akola mu bbanka emu mu Kampala ayitibwa Joel, enyumya embeera gye yayitamu nga mukyala we Sandra aleese mutoowe Julie okubayambako awaka ng’abakozi basusse okubatawaanya anti nga bakolawo emyezi giigyo ne bafuna kye beekwasa ne badduka.

Joel agamba: mu mwaka ogwokusatu nga ndi ne Sandra, Omukama yatugonnomolako ezzadde lya balongo.

Be baana be twali tusookeddeko kyokka engeri gye baali ababiri omulundi ogumu baalingako emirimu mingi.

Twalina omukozi kyonna abalongo yabalera okumala omwezi gumu n’atutegeeza nga bw’ayitiddwa okujjanjaba nnyina eyali ku kitanda.

Omulala gwe baatufunira amangu okutukwatizaako yali tasobola bya baana ate nga mujama era Abakugu balabudde ku bizibu ebiyinza okuvaamu Nnalongo Sandra n’amugoba nga tawezezzaawo yadde omwezi.

Mu kiseera kino mutoowe Julie yali amalirizza ebigezo bya S6 kwe kumuyita abayambeko.

Julie omulimu gw’okulabirira abalongo yagukola bulungi Joel ne Sandra ne basiima kuba yabalaga omukwano, nga muyonjo ate nga n’emirimu gy’awaka agitegeera.

Sandra omulimu gw’akola gwa busawo (nnansi) era ekiseera kyatuuka ng’alina okudda ku mulimu.

Ku ddwaaliro; gano agali mu nkola ya yinsuwa, baakoleranga mu mpalo ng’oluusi akeera ku makya n’avaayo akawungeezi ate olulala ng’agenda lwaggulo n’akomawo ekiro ennyo oba enkeera.

ENGERI GYE BATEGA OBUMASU

Joel ayogera ku Julie ng’omuwala omulokole nga ne mukulu we amutendereza nga bwali omusabi.

Wabula lumu Julie ng’amazeewo emyezi ng’esatu Joel abeera agenda ku mulimu kwe kumuwaana nga bwali ‘smart’ kuba yali asibye ettaayi ku ssaati enjeru n’ampale eya bbululu ayaka.

Joel yali alowooza nti bikomye awo kyokka abeera ali ku mulimu kwe kumuweereza ka WhatsApp nti ‘you looked Great this morning’; ekitegeeza nti ‘walabise ng’oli muyitirivu enkya ya leero’.

Joel naye kwe kumuddamu nti ‘really… thanks for the appreciation’ ekitegeeza nti ‘ddala kituufu… weebale kusiima’ Ku olwo akawungeezi engeri Sandra gye yali agenze ku mulimu, Joel kyamubuukako okusanga Julie bulijjo ayambala ebiwanvu nga yeesaze mmini ate ng’emukutte yadde yasooka kubuzaabuza ng’asuuliddeko gawuni ku ngulu.

Olwatuuka mu nju egganduula Julie n’agiggyako era wano ebirowoozo bya Joel we byatandikira okucankalana.

Omuwala naye yatandika okulaga nti alina ky’agoba kuba n’eddoboozi yatandika okuliwoomya nga takyalina na nsonyi kutunula butereevu mu maaso ga Joel.

Joel yasooka kutya nti oba bamutega kamasu bamukwasizeeko naye olumu yali avudde ku mulimu kyokka okwandibadde ng’okumukulisaayo nga yaakava mu mmotoka, omuwala yamuwa ‘haaga’ lubalala n’awulira nga n’ennywanto z’amabeere zimunyonyoogera mu kifuba.

‘Nnali nkyatenda ennyonyoogeze z’amabeere, nagenda okuwulira nga kiisi erumye awo ne nfaa……

Bwenadda engulu kwe kutegeeza Julie nti ‘Naye okimanyi nti okyali mwana muto….muganda wo bw’anaakulaba’ Era mu kunziramu yagamba nti ‘Kyokka Ddadiiii….. omuto y’afaanana atya…’

Joel embeera yamusukkako kuba jjukira Nnaalongo Sandra oluusi yakolanga kiro wano bombi ne bafuna omwagaanya gw’okwegazaanya.

Agamba nti lumu baakola ensobi mu nsobi Julie bwe yafuna olubuto wabula oluvannyuma omuwala yatetenkanya ne bawona okuswala.

BAMANYI OKWEZIZIKA

Mu mbeera eno Julie yeezizikanga ewa mukulu we nga Joel amwogerako nga bw’ali omusajja omukambwe era asirika ng’atali waka ng’olumu amulekera abalongo okubagabirira nga tamuyambye (yali alimba).

Ensobi endala Sandra gye yakolamu, omukwano ogusinga yaguzzanga ku baana ate bwe yagattangako okukola n’adda ng’akooye olwo obudde bw’awa Joel ne bukendeera.

Yasooka kumugoba ku buliri ng’asulako n’abalongo ate musajja wattu bwe yabanga ateesa okubaako kye bakola mu kisenge ng’omukyala amuddamu;

‘Naye ggwe toyinza kulaba nti banno bakooye’. Mu bunafu buno Julie ne Joel mwe baasinga okwegazaanyiza kuba Julie yatuuka n’okusaasiranga omusajja ku ky’okumusenzanga oluti n’obutamuwa ‘care’.

Sandra mu kusooka naye yatenderanga Julie ne mugandawe omulala nga Joel bwali ‘caring’ (afaayo), amutwala ne badigida ate nga kumpi buli ky’asaba akimuwa. Engeri Joel gye yalina ku ssente Julie ebigezo

BYE BAKOLA OKUKEMA ABASAJJA

Olwadda, obubonero bwe yafuna bwali bumusobozesa okugenda ku yunivasite kyokka ng’alina kwesasulira.

Era olw’engeri Julie gye yali alabiridde obulungi abalongo ate nga bawulira nti bandyagadde okusigala ng’abafaako kuba baali bafunyeeyo omukozi, Sandra yasaba bba Julie asome ng’ava awaka mu bitundu by’e Kyaliwajjala kuba ekifo yakisaba mu yunivasite y’omu Nakawa.

Kwaliko n’okumukwatirangayo ekitundu kya fiizi kuba abazadde ssente baaziteekanga ku bato ba Sandra abasatu abaali bakyasoma siniya. Kino kyabongera ebbeetu (Julie ne Joel) okusigala nga bebbirira.

Abasajja bangi abeesanga mu mbeera ng’eya Joel. Abamu babeera n’obuvunaanyizibwa bwe bakola ku balamu baabwe okugeza okubafunira omulimu, okubasasulira fiizi n’ebirala ng’okwandibadde ng’okubasasula, kubeera kubaganza.

Abalala mu mbeera y’obwenzi beegomba balamu baabwe nga balaba bakyala baabwe tebakyabasanyusa nnyo nga we batandikira ne bakola kyonna ekisoboka okubaganza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...