TOP

‘Mutaka’ lw’alaga obutiitiizi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th May 2019

MUTAKA gwe tukuleetedde olwaleero muganzi nnyo eri abakyala era bw’alengera amusanyudde, awaga n’asuukiira n’omutenda obuvumu n’amaanyi.

Ucexigqse7annoying1 703x422

Bamaama nga bamulabyeko ng’awaze abaleeta essanyu ku mutima n’okufuna obwagazi.

Wabula ‘mutaka’ ono ate mutiitiizi bulala kuba olufuna ekimukanga toyinza kumanya bugumu bw’abadde nabwo gye bubulidde.

Bw’oba oyagala okukakasa obutiitiizi bwa ‘mutaka’, bwe muba nga muli mwembi awantu ne mumala mufuna ekibakanga, amazima akwabulira era ssinga yali atambula buli musajja yandimwekangidde waka ng’amwenenyeza nga bwe yafunye entiisa n’adduka nga taabisobole.

Obutiitiizi asinga kubwoleseza mu mbeera nga musajja munne amulumbye oba okulaba ekintu ekikanga ku mukazi nga mugenda okuyingira ensiitaano y’omukwano.

James ow’e Makindye, agamba nti olunaku lwe yakakasa obutiitiizi bwa ‘Mutaka’ lwe yali agenze mu loogi emu n’omukazi gwe yali yaakakwanira emyezi ebiri.

Omusajja yabakonkona n’amaanyi nga bateekateeka okutandika okwesogga olwokaano olwo ‘mutaka’ n’annyogoga.

James agamba nti wadde yakitegeera oluvannyuma nti eyabakonkona yali mutamiivu eyali awubiddwa ennamba y’akasenge ke, ‘Mutaka’ teyadda ngulu okutuusa lwe baavaayo. Agamba nti obwongo bwasooka kumuweereza nti osanga omukazi gwe yali naye alina omusajja omulala nga bakoze omupango bamukwate.

Wadde munne bwe baali yagezaako okukola kyonna ekisoboka amukkakkanye basobole okubaako kye beekolera, naye ‘Mutaka’ yagaana okuddamu embavu. Abasajja ekimu ku bitera okubakanga kwe kutema munno sipeeya n’osanga ng’omubiri guliko ekitateredde.

Teebereza ng’omukazi lw’asoose okukweyambulira alina olukindo olunene ku lubuto abamu lwe beeyitira oluguudo lw’eggaali y’omukka oba nga yayiwa ensundo ennyingi, bw’otabeera musajja nnyo ‘Mutaka’ akuvaamu munno gw’oli naye n’atandika kwebuuza ogubadde.

Ekimu ku biyinza okulemesa omusajja ensiitaano kwe kulekako essimu naddala nga toli na mwagalwa wo.

Ekyekango kitera okubaawo ng’akubye ye mukyala w’awaka nga muli mu mukwano ogw’okubbirira.

Essimu etaataaganya obwongo era ababimanyi bagiggyako nga bagenda okwesogga ensiitaano oba okuggyirako ddala eddoboozi olwo n’azuula amukubidde ng’ensiitaano ewedde.

Mulimu abasajja abamanyi okugenda mu nnyumba z’abakazi okwesanyusiza eyo.

Kyokka ssinga wabaawo ajja n’akonkona nga mugenda okutandika ensiike, ‘mutaka’ ayinza okwediima n’awola ng’eggolu.

Omusajja omu yanyumya bwe yagenda okwesanyusa n’omukazi eyalina ebbeere eddene ate nga lyafuuka sitookisi.

Agamba nti munne bwe yaliggya mu kaleega lyalabika ng’eriyiika ne yeekanga era ne ‘Mutaka’ teyasigala waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze