TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga ekisiraani kye kingaanyi okufumbirwa

Ssenga ekisiraani kye kingaanyi okufumbirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 29th May 2019

SSENGA tuli abaana abasatu abawala ababiri n’omulenzi omu. Nze muwala omukulu naye kati baganda bange bombi bafumbo nze siri mufumbo. Bagamba nnina ekisiraani kubanga bansooka okufuna obufumbo. Kati ddala ssenga sigenda kufumbirwa kubanga bannange bansooka. Era nnina ekisiraani?

Ssenga1 703x422

Ekisookera ddala ssinga weeteekaako ekigambo nti olina ekisiraani era ofuna ebisiraani.

Abantu bangi embeera eno tebagimanyi naye oluusi ebirowoozo bw’obiteeka mu bwongo bye bikubeerako. Abantu bangi tebamanyi nti beeroga bokka.

Naye bw’obeera mu mbeera ng’olina essuubi era Mukama atuuka ekiseera n’akuwa ky’oyagala. Kati buli muntu alina olugendo lwe ku nsi. Tekitegeeza nti ffenna tulina kukwata lugendo olwo.

Tekitegeeza nti bw’obeera omukulu gw’olina okusooka okufuna obufumbo. Tuli bantu ba njawulo era teri muntu ku nsi afaanana munne.

N’ekirala oyinza okwagala obufumbo naye ng’ebikolwa tebiraga nti ddala oyagala okufuna obufumbo. Kati ennaku zino abakyala bangi ate basajja batono.

Kati abakyala abatalina basajja balina okugezaako okulaba nti bafaayo okufuna abasajja.

Ate n’abakyala abalina abasajja balina okukuuma abasajja be balina. Noolwekyo gezaako okunoonya oba okubeera mu mbeera nti onoonya.

Tewetaaga kukwana naye olina okugenda mu bifo awabeera basajja abasobola okukwana, oba okubuulira ku bantu be weesiga bakuyambe.

Ennaku zino n’emikutu giyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...