TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obulimba n’obwenzi bwantamya abasajja

Obulimba n’obwenzi bwantamya abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2019

Yannimba nti dokita e Mulago, ne nkizuula nti teyali dokita yali abajja kkeesi z’abafu ku Bbiri.

Namuleme 703x422

Namuleme

GUBA mukisa katonda nakuwa omubeezi omwesimbu! Nze Sophia Namuleme 21 mbeera Kawempe mu muluka gwa Makerere III mu Dobi Zooni.
 
Kirabika okufuna ebizibu by’omukwano eby’omuddiringanwa kyandika ekisiraani. Nange buli musajja gwe nfuna nensalawo okumufumbirwa bw’ataba mulimba aba
mwenzi.
Waliwo bwe ntuuka ne ngamba okwesonyiwa abasajja naye olw’okuba eby’omukwano okuggyako ng’olina ekizibu eky’amaanyi si byangu kwebyesonyiwa.
 
Nze obufumbo nabwesonyiwa kati nfuna bakagwirawo tebalumya mutwe n’ebw’obeera naye leero enkya n’omusanga n’omuwala tekikuzimbya mutima .
 
Mu 2016, John yankwana n’asaba obufumbo kubanga abakazi emitima gyaffe gimatira mangu nakkiriza n’antwala ewuwe e Kanyanya gye nafumba emyezi mukaaga ne mukwata n’omuwala nga basinda omukwano mu buliri bwaffe.
 
Okumukwata nnali ngezeeko mu kyalo wabula samubuulira lwe nkomawo. Bwe nadda natuuka kiro ssaawa 2 era nasanga kyetinda. Kirabika sirina mukisa gwa kufumbirwa.
 
Mu 2017 nafuna omulala n’antuuma amaanya g’omukwano mangi okuli; bebbi, kkwiini n’amalala ne nkakasa nti anjagala byaddala nange ne nsumulula omukwano.
 
Ono namugwikirizza Bwaise n’omuwala ng’amukute mu kiwato batambula beeraga omukwano, nayimirira ne mbatunuulira n’ebakwata ekkubo eridda ku loogi ekirungi tebandaba. Naddayo awaka ne nkaaba nga mbuuza katonda kye namukola
okumpa abasajja abenzi n’abalimba ate nga nkyali muwala muto.
 
akawungeezi yakomawo ng’alowoozza sirina kye maanyi yangamba nti bebbi mpa ku mazzi naabeko leero emirimu ginkooyezza nnyo saamwanukula nakwatamu ngoye zange ne muviira.
 
Mu 2018 nafuna omulala ng’ali simaati nnyo yangamba nti dokita e Mulago olw’embeera gye yalimu nga ndaba musajja wa buvunaanyizibwa nakkiriza.
 
Bwe nadda awaka n’afukamira ku ne nneebaza Katonda okunzijukira n’ampa omusajja eyasoma ng’alina ne ssente. Nkizuula luvannyuma nti teyali dokita yali abajja kkeesi z’abafu ku bbiri.
 
Ono mu kusooka yannimba nti talina mukazi mpozzi yalina basatu kino kyankuba wala n’okutuusa kati nneewunya obwenzi n’obulimba bw’abasajja .
 
Omusajja omwenzi ne bw’omulaga omukwano n’omukolera buli kimu okulaba nga tajjula afundikira afunyeyo abalala, mpozzi n’abawala abamu tebakyalina bwesigwa kuba omuwala omu ayinza okuba n’abasajja abasoba musanvu ng’akikola lwa byanfuna nafundikira ng’afunye obulwadde.
 
Bw’olaba omuntu nga yeetamwa ebyomukwano tomunenya abaako byayiseemu kuba nze byendabidde mu mukwano binkaabya amaziga.
 
Ky’ova olaba ng’abamu tebakyafumbirwa bakuba bibaluwa. nsaba abawala bannange
obutapapira basajja kuba ekigendererwa kyabwe si mukwano gwa ddala wabula baba baagala kwetaasa kizibu .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba