TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kapito gwe nakungaanya mu bulumi baze yamubba n’awasa omulala

Kapito gwe nakungaanya mu bulumi baze yamubba n’awasa omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2019

Emyezi egyasooka yali akola bulungi nga ssente zange azimpa naye ekiseera kyatuuka n’atandika okukyusa enneeyisa ye ng’eyali andeetera 30,000/- buli lunaku n’atandika kuleeta 10,000/-

Nsooli 703x422

Nsooli

Mu butuufu ekisolo kye bayita omuntu si kirungi kukyesiga. Nze Rukia Nsooli, 30, mbeera Nangunga mu disitulikiti y’e Buikwe. Twasisinkana ne baze mu 2015 nga nnina ekirabo ky’emmere ku luguudo lw’e ntebe -Kitooro.

Ono yali omu ku bakasitoma bange be naguzanga emmere, olw’ebbanga eddene lye yamala ng’alya mu kirabo kyange emmere, yatandika okunkwana nga bw’ampaaniriza nti nfumba bulungi emmere era yandyagadde ampase mutokoseze ettooke.

Eby’abasajja nnali nabikoowa olw’okuba gye nnasookera yampisa bubi era kyantwalira ebbanga okumukkiriza. Wabula olw’ebbugumu lya laavu lye yajja nalyo gyendi, omukwano gwanziba amaaso ne ndabira ddala ng’ono ye wa njawulo ku basajja abalala.

Bwentyo nakkiriza nga tutandika mukwano. Yansaba nveeyo ne mukazi go ke nnali mpangisizza ngende ewuwe tutandike okubeera ffembi nange saamulwisa nga tutandika bufumbo.

Oluvannyuma lw’ebbanga nga tutambuza omukwano nafuna olubuto era amaanyi gaatuuka ekiseera ne ganzigwa, baze n’ahhamba ndekere awo okukola agenda kunyambako okutambuza bizinensi yange.

Emyezi egyasooka yali akola bulungi nga ssente zange azimpa naye ekiseera kyatuuka n’atandika okukyusa enneeyisa ye ng’eyali andeetera 30,000/- buli lunaku n’atandika kuleeta 10,000/-

Ekiseera kyatuuka nga n’omutwalo takyagumpa. Bwe namugambangako ng’ankuba okujula okunzita.

Yantegeeza nti bizinensi yagwa kyokka ng’abakozi bwe mbabuuza bangamba nti bakolera ddala. Nalaba baze ekyokumugambako kimunyiiza

nasalawo okusirika ne ngamba nti kasita ezookulya azireka naye ekiseera kyatuuka nga n’awaka takyalabirirawo.

Mu mbeera eyo era yangoba ng’agamba nti takyasobola kundabirira naye saavaawo.

nasalawo okubiyingizaamu poliisi naye teyannyamba nalyoka aneewanirako nti wabadde ondoopa ku poliisi ng’olowooza enenkola ki? Kw’olwo yankuba nga bw’angamba nti ayagala olubuto luveemu nti ye tazaala mu bakazi basiru.

Olw’okutaasa olubuto lwange obutavaamu nasalawo okumuviira ne nzira ewaffe mu kyalo kuba ku kibuga nnali sirina kye nkolako nga ne landiroodi atugobye mu nnyumba.

Nga wayise akaseera nga ndi mu kyalo nga maze okuzaala nakomawo ku kibuga nsobole okunoonya baze ampe ssente zange ze yanziba mu bizinensi nga nnyambibwako poliisi endala. Namunoonya ku kyalo n’ambula nga ne bwe mukubira essimu tazikwata.

Waaliwo mikwano gye gye nnali manyi gye yabeeranga ne ngendayo ne bantegeeza nti yabagaana okwogera gyali. Wabula olw’embeera gye nalimu omu ku bo yawalirizibwa okumbuulira gy’abeera.

Kyanzigwako bwe natuukayo ne nsangayo baze n’omukazi mulala gwe yawasa. Bwe namutegeeza nga bwe njagala ssente zange ze yabba yankuba nga bw’ahhamba “musiru gwe tolaba nti ssente naziwasaamu omugole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...