TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja omukubi wa zzaala yankaliza

Omusajja omukubi wa zzaala yankaliza

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2019

OFANGA tofumbiddwa musajja azannya zzaala kuba naawe ayinza okukuteekayo ng’omusingo. Nze Agnes Nayiti 40, mbeera Bwaise I Zooni e Kyebando.

Nayiti 703x422

Nayiti

OFANGA tofumbiddwa musajja azannya zzaala kuba naawe ayinza okukuteekayo ng’omusingo. Nze Agnes Nayiti 40, mbeera Bwaise I Zooni e Kyebando.
 
Twasisinkana ne baze mu 2003 e Jinja nga nkola gwa kuweereza mmere mu kawooteeri akamu.
 
Omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya era n’ansuubiza ensi n’eggulu n’okunkuba empeta oluvannyuma lw’okwanjula.
 
Yapangisiza omuzigo e Bugembe mu Jinja era mwe twatandikira amapenzi gaffe ne muzaalira n’abaana bana. Wabula oluvannyuma omulimu gwa baze gwa ggwaawo, nga buli kimu kiri ku nze.
 
Nasalawo okujja e Kampala nnoonye ku mirimu egiyingiza ku ssente eziwerako olwo baze ne mmuleka mu kyalo n’abaana ng’akola ogw’okulima.
 
Natuukira mu katale ka Bivamuntuuyo ku Kaleerwe ne ntandika okusuubula obummonde, ssente nga nzifuna bulungi era nga bwe nziweereza mu kyalo kuweerera abaana endala ne nziwa baze abeeko bizinensi gy’atandikawo tugaziye ebyenfuna.
 
Oluvannyuma baze namusembeza mu kibuga tubeere ffenna era ne mmuwa ssente okutandika bizinensi y’okutunda amanda eyamukolera omusimbi omuyitirivu
kyokka yalaba ziweze n’atandika kuzannya bbeetingi, ssente zonna ne ziggwaawo mpolampola ne bizinensi n’ezikirira.
 
Beetingi yatabula amaka gaffe bwe nakizuula nti yali asomola ne ssente z’akabookisi ze naterekanga.
 
Kino kyannyiiza kuba buli ssente ze naterekanga awaka ng’azibba ne ntuuka okuddayo
ku zziro era bwe yalaba ankalizza, ne KCCA ng’etugobye mu butale n’anzirukako nga ndi lubuto lwa myezi ebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze