TOP

Lwaki sirina mikisa?

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2019

SSENGA obuzibu bwe nnina ntambudde mu basawo bangi nga noonya emikisa naye ssenga siraba njawulo era nnyongera kwavuwala.

Ssengalogo 703x422

SSENGA obuzibu bwe nnina ntambudde mu basawo bangi nga noonya emikisa naye ssenga siraba njawulo era nnyongera kwavuwala.
 
Kati ssenga, nnina ekizibu nti abasawo abo ndowooza nti, be bagenda okunnyamba.
Kati nkoze ntya.
 
ENNAKU zino abantu bangi balowooleeza mu basawo Abaganda oba n’okweraguza ku basawo. Naye ekituufu kiri nti, abantu abakola ne babeera n’obumalirivu,  bugumiikiriza era n’obuvumu ate nga bayiiya era nga bakolagana bulungi n’abantu be batera okugaggawala.
 
Ekirala olina okumanya nti abasawo abasinga ennaku zino bafere era bafuna ssente zaabwe bali ku bizinensi.
 
Ekisookera ddala, akuteekamu ebirowoozo mu bwongo nti, tolina mukisa. Era bw’amala okumanya akubuulira ddala ebyo by’otuuseeko mu bulamu.
 
Ekirala abamu balina babbulooka bwabwe nga be basooka okumanya ebikukwatako kati ogenda okugenda ew’omusawo ng’akusomera ebyo byennyini ebikukwatako. Kati
bw’otambula kw’asooka nga tebikola ng’ogenda ku mulala.
 
Bwotyo n’omala obudde ne ssente ng’onoonya mikisa. Emikisa ekisinga buli muntu
agirina era agiraba.
 
Naye abagezi emikisa bakikozesa. Ate abamu bagayaavu tebafaayo bagiraba naye tebagikozesa.
 
Kati abasawo si be bagenda okukufuula omugagga. Olina kwekolera wekka era abagagga basinga kye bakola.
 
Ekirala ssente z’omala nga weeraguza ziteeke mu bintu ebisobola okukuyamba. Abo abazitwala bakufera. Era n’abaana bange abalala abasoma ebbaluwa enno mukole muve ku kweraguza. Obugagga buva mu kukola nnyo.
 
Nkubira ku ssimu eno, 0772458823 twogere. Okweraguza muze mubi era guzza emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba