TOP

Ndeete omukyala omulala?

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2019

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ssengalogo 703x422

NDI musajja mukulu ddala era n’abaana bange bakuze. Naye kigambo kwegatta kigaanyi.
 
Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75. Mukyala wange omukulu yafa.
 
Kati ssenga omukyala ono atandise okugamba abakyala ku kyalo ng’ate nange obunafu bwange mbumanyi. Nkoze ntya mugobe nfune omukyala omulala?
 
Kubanga waliyo omukyala omulala naye nnamwandu asobola embeera yange.
 
ABANTU bangi tebeepimira myaka. Omusajja yenna bw’okula oba omukyala bw’okula ebiseera ebisinga weetaaga omuntu anaakutegeera.
 
Era ebiseera ebisinga omuntu oyo abeera mu myaka gyo oba ng’alina ebirowoozo eby’ekikulu. Oli mutuufu mu butonde omusajja bw’okula amaanyi g’ekisajja gakendeera.
 
Era oyinza obutasobola kumatiza muwala muto oba mukyala muto. Kati mukulu munnange newankubadde oyagala kufuna mukyala mukulu anaakutegeera
naye jjukira nti olina bye watuukako n’abazadde b’omuwala oba omukyala gw’olina. Okwawukana ogenda kubagamba otya? Okuggyako ng’omukyala ono wamufuna
ku kkubo.
 
Nsuubira wamufuna ng’olowooza nti agenda kumala ebizibu byo. Naye ate mu biseera byaffe ebisembayo weetaaga okufuna omuntu akuyambako naddala abasajja mwetaaga omubeezi.
 
Ekirala gw’oyagala okuleeta omwetegerezza ng’anaasobola okubeera naawe. Nsuubira olina baana era naye alina abaana. Banaakitwala batya ng’oleese omukyala ono mu bintu
bya maama waabwe. Omukyala ono mwetegefu okubeeramu ng’omubeezi wo?. Kubanga byonna olina okubitunuulira ng’ofuna omuntu omutuufu.
 
Weebuuze ku bantu abalala ebikwata ku mukyala ono era topapa kugoba
mukyala nga tolina nsonga ate sooka weetegereze gw’oleeta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...