TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukama yaddamu essaala yange n’ampa omukyala gwe njagala

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa omukyala gwe njagala

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2019

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga nange ne ndowooza nti abakyala bonna balabika bwe batyo nga ntya n’okufuna omukyala.

Bizi 703x422

Nayibizi

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe
olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga nange ne ndowooza nti abakyala
bonna balabika bwe batyo nga ntya n’okufuna omukyala.
 
Wabula oluvannyuma nasiba omutima ne mmanya nti bwe nadda mu bino okuwasa
kuyinza okunnema. Endowooza eno ye yampaliriza ne nfunayo omuntu.
 
Nze Ivan Niyibizi, mbeera Lubaga mu Kampala.
 
Nga sinnasalawo kufuna muntu, nasooka ne nsaba Katonda annyambe anfunire omwagalwa omulungi mu ndabika ate ng’ampeesa ekitiibwa.
 
Essaala yange eno Katonda yagyanukula era n’ampa omuntu.
 
Mu lugendo lwange olw’okunoonya omukyala, amaaso gansuula ku muwala eyali
alabika obulungi era nange omukisa ne ngukozesa bulungi okukkakkana ng’afuuse
mukyala wange era tumaze emyaka esatu nga tuli ffenna.
 
Mu mukwano guno, Katonda atugabiriddemu abaana babiri.
 
Nneebaza Katonda olw’okumpa omukyala eyeeyisa ekikulu ate nga twagalana. Mukyala wange tagendera ku bigambo by’abantu era akola bibye.
 
Ekirala ekinjagaza mukyala wange ono kwe kuba nti andabirira bulungi awatali kwemulugunya kwonna ate ng’ampa ekitiibwa ekinsaanidde nga ze zimu ku nsonga lwaki nange musuubiza okumulabirira n’okumwagala ebbanga lyonna lye tunaamala ffembi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...