TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ow'ewanga antabudde! Ayagala ssente alinga amayembe

Ow'ewanga antabudde! Ayagala ssente alinga amayembe

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2019

MUKYALA wange alabika akooye obufumbo. Buli kiseera ansaba ssente era oba oyagala emirembe naye olina okuumuwa. Kyokka ssente z’ansaba talina kyazikolamu. Azimalira mu nviiri era oluusi otuuka awaka nga tasobola kugula nva ng’alina kulinda nze. Ssenga omukyala ono mumaliddeko ssente nnyingi ddala naye mpulira nkooye.

Ssenga1 703x422

ABAKYALA abamu ennaku zino bakuliriza nnyo ssente era we zitali tebaba na mukwano.

Eyo y’embeera eriwo naye si nnungi kubanga mu bufumbo oba mu mbeera eya bulijjo kizibu okusanga omuntu abeera ne ssente buli kiseera. Ate n’obufumbo waliyo ebiseera nga mulina ssente ate oluusi ne zibula.

Omukyala yenna alina okulaba ng’akekkereza ssente za bba kubanga bwe zitayala mu maka era naawe n’abaana kibayisa bubi naye oyo ye mwonoonyi.

Naye nange nkunenya kuba olabika oyagala kwegula.

Bw’olaba nga munno ayagala nnyo ssente ate ng’azoonoona, tomala gazimuwa kubanga amaka gammwe tegasobola kukulaakulana nga mwonoona ssente.

Mubuulire lwaki togenda kuzimuwa kuba zisobola okuyamba mu bintu ebirala eby’awaka. Alina okumanya nti oluusi ssente tezibeerawo.

Eby’okumumalirako ssente biveeko. Ssente ggwe ozikola era olina okutwala obuvunaanyizibwa okulabirira amaka go. Muwe ezisaanidde nga weebalirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...