TOP

Buli anzaalamu andekawo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2019

NZE Elizabeth Negesa 33, mbeera Mbale. Olw’endabika yange buli musajja anzaalamu andekawo.

Pala 703x422

Mu 2000 wadde nga nali nkyasoma mu S2, nafuna omulenzi eyandya obwongo. Omulenzi ono amaka mwe yali ava gaali galiraanidde ddala ewaffe.

Omulenzi ono namusisinkananga mu luwummula kuba nnali nsomera mu kisulo wadde nga yateranga okunkyalira ku ssomero n’andeeteranga buli kye nnalinga neetaaga kuba ye yali yamala dda okusoma era ng’akola.

Ebyembi nafuna olubuto mu S4 naye Katonda nannyamba ne ntuula ebibuuzo bya UNEB nga n’essomero teritegedde nti ndi lubuto.

Bwe namutegeeza nga bwe ndi olubuto, yalaga nti mwetegefu okubeera nange era kwe kutegeeza ab’ewaabwe.

Kino tekyasanyusa bazadde be era mu kumwanukula, bamutegeeza nti, “Omuntu bwatyo kisiraani era ne mu kika kyaffe tetuyinza kumukkirizaamu, totuletera...”.

Olw’okuba nti amaka ga bazadde bange galiraanye agaabwe, amawulire g’okubeera olubuto, gaatuuka mangu ku bazadde bange, mu bukambwe obw’ekitalo, taata yankuba oluyi nga bwambuuza oba yansindika ku ssomero kuzaala.

Oluvannyuma yambuuza nnannyini lubuto ne mmugamba nti ye mutabani wa muliraanwa.

Ky’ava addamu n’ambuuza nti, “Ani nnannyini lubuto? awo we namutegeereza nti ye Charles.

Bazadde bange baayita poliisi, n’omulenzi ono ne bamutumya. Yajja awaka ng’awerekeddwaako baganda be era ne bamukozesa endagaano y’okunzizaayo ku ssomero nga mmalirizza okuzaala. Era ne bamunkwasa mu butongole.

Enkeera, yapangisa omuzigo e Mbale mu town ne tutandika okubeera ffembi ng’abafumbo.

Nga twakamala ebbanga ttono ffembi, bazadde b’omulenzi lumu ne bankeera nga nkyebase ne bakonkona ku mulyango.

Bwe nnaggulawo, baayitawo butereevu omu n’atuula ku kitanda ate omulala n’atuula ku mmeeza ne bambuuza nti, “mutabani waffe aliwa?” kwe kubaddamu nti agenze ku mulimu.

Awo we baatandikira okuyomba n’okuntegeeza nga bwe baali tebaneetaaga mu maka ga mutabani waabwe, nti ndi wa kisiraani eno nga bwe bakasuka engoye zange wabweru.

Nakubira omwami wange essimu n’akomawo awaka. Aba yaakatuuka ne bamwambalira nga bamubuuza ,oba mu bakazi bonna yalondayo nze ate nga baamugamba dda, kwe kubagamba nti nze gw’ayagala wamma ne baddamu buto okutabuka.

Nalaba bikaaye ne nkubira bazadde bange essimu ne mbasaba ngira nzirayo awaka anti nga mbuzaayo ebbanga ttono okuzaala. Wadde nnali nzizeeyo ewaffe, yasigala ampeereza obuyambi.

Nazaala bulungi era omwana bwe yaweza emyaka ebiri, bazadde bange ba tukiza eky’omusajja ono okunzizaayo okusoma nange ne nkimutegeeza.

Yampeerera ne nsoma obusomesa era emyaka ebiri gye namala mu kusoma, we yafunira omukazi omulala nti bazadde be bamung'aana.

Naguma ne noonya omulimu okutuusa bwe nafuna essomero ne ntandika okusomesa. Eno gye nnafunira omusajja omulala eyanyanjula n’ankuba n’embaga naye eby’embi, ono yanzirukako mu wiiki bbiri n’andeka mu muzigo.

Ono saamanya kyamutwala wabula ntegera luvannyuma nti banne bamusekereranga olw’okuwasa omuntu alinga nze.

Omusajja ono yandeka n’olubuto, era mu nnaku ey’ekitalo ne ndukuza ne nzaala. Kati nnina abaana bange babiri, omu wa myaka 17 ate omulala wa myaka 10.

Omulimu gwange ogw’obusomesa gwe gunnyambye okwebeezaawo n’abaana bange era basoma.

Abantu b’ekikula kino nga nze tukyasanga okusoomoozebwa okw’okusosolebwa ng’ate naffe tuli bantu ng’abalala abeetaaga okwagalibwa n’okufiibwaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...