TOP

Ennaku zino sikyawera

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2019

Ssenga ndi muvubuka munene naye nnina ekizibu kubanga obusajja bwange butono ate n’entula nnina emu. Kati ntya n’okukwana. Bwe nnali omutono obusajja bwali buwera nga n’entula zombi nzirina.

Ssenga1 703x422

Mwana wange olowooza obunene si bwe buleese ekizibu kino. Omusajja bw’agejja obusajja bubula mu mbugo naye nga gye buli.

Ate n’entula nsuubira nti engeri nayo gy’eri okumpi awo, olw’obunene tosobola kugiwulira bulungi. Kati kambuuze lwaki tokendeeza ku sayizi.

Kubanga oluusi ne sayizi eyo etiisa abakyala okugyako abanoonya ebyabwe.

Abo ogenda kubafuna era bwe bamala okufuna bye baagala nga bakuviira.

Omugejjo ogwo oguyitiridde si mulungi n’akamu. Abantu abasinga balowooza nti mirembe naye mugejjo kitegeeza bulwadde.

Nsuubira olya nnyo ebintu ebitakugasa oba ebireeta omugejjo.

Wandisoose kugenda kulaba musawo akubuulire oba omugejjo gw’olina mulungi oba si bulwadde.

Olwo olina okugezaako ofune sayizi entuufu kubanga omugejjo guleeta n’obugumba mu basajja oba abakyala.

N’ekirala bw’ogenda ew’omusawo era bakebere oba olina entula emu. Kubanga entula olina kubeera na bbiri naye ekirungi emu nayo ezaala bulungi era terina mutawaana.

Ate omusajja omunene era oluusi afuna obuzibu mu kwegatta ate n’amaanyi abeera na matono.

Kale mwana wange omugejjo gukoleko mangu. Nkubira twog

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...